Bya Silvano Kibuuka
Empaka za All Africa Senior Badminton Championships zitongozeddwa e Lugogo gye zigenda okubumbujjira nga October 21-28.
Amawanga 16 ge gakakasizza okwetaba mu mpaka zino Uganda z’egetese omulundi ogusooka oluvannyuma lwa South Africa eyali egenda okuzitegeka okujjamu enta olw’ekirwadde kya Corona.
Uganda eyungudde abazannyi abakazi mukaaga n’abasajja bataano okukiikirira eggwanga mu mpaka zino era mwe bagenda okunoonyeza obubonero obubatwala mu mizannyo gya Commonowealth Games e Birmingham omwaka ogujja.
Bad 5
Bagenda kuvuganya mu nzannya za ttiimu wanu n’eza ssekinnoomu.
Omumyuma wa ssabawandiisi wa NCS, David Katende y’alulidde okutongoza empaka zino n’agamba nti gavumenti.
“Gavumenti empaka ezikkirizza mu butongole. Twagala abategesi aba Uganda Badminton Association okugoberera obukwakkulizo bw’okwetala okusasaanya ekirwadde kya Corona. Wabula era tubasiima kubanga mwalwanyisa bulungi ekirwadde kino bwe mwategeka empaka za Uganda International mu February omwaka guno era nga y’ensonga lwaki Uganda yaweereddwa omukisa okutegeka ne zino,” Katende bwe yategeezezza.
Ye omutendesi William Kabindi agamba nti abazannyi beetegese bulungi mu bbanga ery’omwezi lye bamaze mu nkambi.