Ttiimu okuva mu mawanga 16 ze ziri mu nsiike ng’obululu babukwata kawungezi leero (Lwakusatu) okumanya enzannya eziggulawo empaka.
Ensiike etandika na nzannya za ttiimu z’amawanga ezigenda okumala ennaku ssatu olwo batandike eza ssekinnoomu bazzeeko babiri ku babiri abasajja n’abakazi ate oteekeko ez’ababiri ku babiri omusajja nga yeegattiddwako omukazi.
Omutendesi William Kabindi agambye nti abazannyi babanguddwa ekimala era akakasa nti baakusindana bulungi ne bakirimaanyi ba Africa okuli; Misiri, Algeria, Nigeria, South Africa , Mauritius n’amalala.
“Ebbanga lye tumaze mu nkambi lituwadde ekituufu era abazannyi mbesiga. Ekirungi ng’abategesi empaka zitukkiriza okuteekamu abazannyi mukaaga abakazi n’abasajja mukaaga.
Ttiimu ya Uganda eri mu nkambi e Kasubi wakati mu kwerinda ekirwadde kya Corona era ng’amawanga gonna gasuzibwa mu bifo bya njawulo.