KCCA ne NIC benkanyizza evvumbe mu liigi y'okubaka
Dec 05, 2021
OMUTENDESI wa KCCA Netball Club Douglas Katabalwa yabuze katano okufiira mu bifuba by’abazannyi olw’essanyu eringi lye baamuwadde bwe baakoze amaliri ga ggoolo 44-44 ne NIC bakyampiyoni ba liigi y’okubaka emirundi 19.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Gerald Kikulwe
Mu liigi y’okubaka
Makindye Weyonje 46-50 Prisons
Posta 43-61 UPDF
Ug x Luweero 64-27 KBK
KCCA 44-44 NIC
OMUTENDESI wa KCCA Netball Club Douglas Katabalwa yabuze katano okufiira mu bifuba by’abazannyi olw’essanyu eringi lye baamuwadde bwe baakoze amaliri ga ggoolo 44-44 ne NIC bakyampiyoni ba liigi y’okubaka emirundi 19.
Ku kisaawe ky’essomero lya Kibuli Primary emizannyo gye gyattunkidde ng’ekitundu kya sizoni kikomekkerezebwa, buli ttiimu yabadde erwana okuwummulira mu kifo ekyokumwanjo, okutangaaza emikisa gy’ekikopo sizoni eno.
Nga bwe gwali sizoni ewedde nga KCCA ne NIC ziri ku mbiranyi ya buli omu okusuuza munne ekikopo, NIC yawangula ensiike eyasooka (40-37), ate KCCA n’egyesasuza ku gw’okudding’ana(43-41), ku luno abawagizi baabemberedde ku kisaawe e Kibuli okulaba ani amegga munne era obwedda ttiimu zombi ziri ku tontwala nkutwala gye byaggweeredde nga maliri.
KCCA yeefuze ‘quarter’ eyasoose(15-12), NIC neyeddiza ‘quarter’ eyookubiri (14-7,), eyookusatu nebenkanya evvumbe(11-11) ate KCCA newangula ‘quarter’ eyookuna(11-7).
“Essanyu ninna lingi, omuzannyo gw’abadde gwa bunkenke naye ekikulu twazze tubeewulira era obwedda tubazannyisa bwongo bwokka, era tukkiriza nti ekituntu kya kya sizoni ekyokubiri tebajja kutuwona,” Katabalwa bwe yategeezezza.
NIC ekyakulembedde liigi n’obubonero 17 mu nsiike 9, Prisons (16), Makindye Weeyonje (14), KCCA(11) n’endala.
NIC yaakawangula liigi eno emirundi 20, Prisons (3) ne Posta gumu gwokka, abalala banoonya kikopo kisooka okuli ne KCCA.
No Comment