Ttiimu ya Badminton eggumidde

Ttiimu ya Uganda ey’omuzannyo gwa badminton eggumidde oluvannyuma lw’abazannyi ababadde batendekerwa e Dubai okugyegattako.Brian Kasirye ne Fadilah Shamika bamaze emyezi ebiri mu ggwanga eryo ku sikaala nga batendekebwa wamu n’abamu ku bazannyi ba Africa n’amawanga amalala.

Ttiimu ya Badminton eggumidde
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Ttiimu ya Uganda ey’omuzannyo gwa badminton eggumidde oluvannyuma lw’abazannyi ababadde batendekerwa e Dubai okugyegattako.

Brian Kasirye ne Fadilah Shamika bamaze emyezi ebiri mu ggwanga eryo ku sikaala nga batendekebwa wamu n’abamu ku bazannyi ba Africa n’amawanga amalala.

Abazannyi bombi basuubizza okweyambisa obukodyo bwe bafunye mu kutendekebwa okwo.

Omutendesi wa ttiimu ya Uganda, William Kabindi ategeezezza nti alina essuubi ddene mu bazannyi bombi okuyamba Uganda okuwangula empaka zino.

“Babadde mu kutendekebwa ku ddaala lya nsi yonna era bafunye obukugu bungi. Tebagenda kukoma ku nzannya za ssekinnoomu wabula n’okugasa mu nzannya eza babiri ku babiri,” omutendesi Kabindi yw’ategeezezza.

Empaka za Thomas and Uber zaakwetabwamu amawanga 17 galeese ttiimu z’abasajja 15 n’ezbakazi 12 mu mpaka zino ezizannyibwa buli luvannyuma lwa myaka ebiri.

Ttiimu ezinawangula mu basajja n’abakazi ze zijja okukiikirira olukalu lwa Africa mu mpaka za Thomas and Uber Cup ez’ensi yonna ezisuubirwa mu May mu ggwanga lya Thailand.