Aba Emperor Motors bajunye empaka za Badminton ezitegekeddwa Uganda

Empaka za badminton eza Uganda International Challenge ezitegekeddwa aba Uganda Badminton Association (UBA) zitandise ba bbugumu mu Lugogo Indoor Arena.

Aba Emperor Motors bajunye empaka za Badminton ezitegekeddwa Uganda
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Okuzongeramu ebbugumu, kkampuni ya Emperor Motors ebawadde ensimbi 2,000,000/= okuziddukanya nga zikwasiddwa akulira emirimu mu UBA, Simon Mugabi.

Majena wa Emperor Motors, Karuna Murthy ategeezezza nti kyamugaso okuteeka ensimbi mu mizannyo kubanga giwa abantu obulamu olwo ne basobola okutumbula zi bizinensi ezitali zimu nga basigulamu ebintu.

“Guno gwe mulundi ogusoose okuteeka ensimbi mu mizannyo mu Uganda kubanga twakajja. Tujja kwongera okuziteekamu kubanga twagala okukolagana n’abantu abalamu,” Karuna bwe yategeezezza.

Amawanga 39 ge geetabye mu mpaka zino eziggyiddwaako akawuuwo eggulo ku Lwokuna n’enzannya ez’okusunsulamu mu bakazi n’abasajja.

Uganda etunuulidde abazannyi okuli Brian Kasirye eyakomye ku luzannya lwa fayinolo mu mpaka za All – Africa Senior Championships wiiki ewedde nga ye mujjamutanda yekka atandikidde ku mutendera omuzannyirwa bakafulu.

Abakazi ba Uganda abagenda okutandikira ku mutendera gwa bakafulu ye Husina Kobugabe, Fadilah Shamika, Tracy Naluwooza ne Gladys Mbabazi abatandika okusindana leero ku Lwakutaano.