Kassim Ouma alabudde Bannayuganda abaayingiridde ebikonde by'esimbi: 'Mwesibe bbiri'

Feb 28, 2022

KASSIM 'The Dream' Ouma eyali nnakinku mu kuggunda enguumi asibiridde Shadir Musa ne banne entanda nga bano baatandise okuzannya ebikonde eby’ensimbi.

NewVision Reporter
@NewVision

Ouma eyaakada mu ggwanga okuva e Girimaani gy'awangalira alabudde Shadir Musa abadde kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ kwossa banne David Ssemujju ne Catherine Nanziri okujjukira nti ebikonde by’ensimbi byawukana nyo ku bya bakyakayiga bye babaddemu.

Abasatu mu butongole baalangiridde wiiki ewedde bwe bagenda okutandika okuzannya ebikonde eby’ensimbi wansi wa kampuni ya ’12 Sports Round Boxing Promotions’.

Kassim Ouma

Kassim Ouma

Wano Ouma waasinzidde okubalabula nti ebikonde by’ensimbi gye bazze muliro byetaaga okwewaayo ennyo kwossa okuteekamu ennyo bw'oba waakubifunamu n’okutuukirizza ebirooto byo.

Ouma yoomu ku Bannayuganda 5 bokka abaakawangula emisipi gy’ensi yonna bwe yawangula ogwa IBF World Junior Middle title mu 2004 ng’akubye Omumerika Varno Phillips.

Nanziri 0

Nanziri 0

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});