Nakaayi awangulidde Uganda omudaali gw'ekikomo mu gy'ensi yonna

OMUDDUSI Halima Nakaayi awangulidde Uganda omudaali gw’ekikomo mu mizannyo gy’ensi yonna egya ‘World Atletics Indoor Championship’ mu mita 800.Emisinde gino gyabumbugidde mu kisaawe galikwoleka ekibikke ekya Stark Arena mu kibuga Belgrade ekya Serbia.

Nakaayi awangulidde Uganda omudaali gw'ekikomo mu gy'ensi yonna
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

OMUDDUSI Halima Nakaayi awangulidde Uganda omudaali gw’ekikomo mu mizannyo gy’ensi yonna egya ‘World Atletics Indoor Championship’ mu mita 800.

Emisinde gino gyabumbugidde mu kisaawe galikwoleka ekibikke ekya Stark Arena mu kibuga Belgrade ekya Serbia.

Nakaayi yagidukidde edakiika 2:00:66 nafuuka munnayuganda asoose okuwangula omudaali gwonna mu misinde gy’ensi yonna mu bisaawe ebibikke (Indoor Games).

Yattunse ne bakafulu okwabadde Omumerika Ajees Wilson eyagiwangudde ku dakiika 1:59:09 kwosa Freweyni Hailu munnansi wa Ethiopia eyakutte eky’okubiri ku dakiika 2:00.54 ate Natoya Goule Omujamaica omukyala akyasinze okuwenyuka obuweewo mu mita 800 n'amalira mu ky’okuna ku dakiika 2:01.18.

Nakaayi ajjukirwa era okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna egya ‘World Championships’ egya 2019 egyaali e Doha e Qatar.