Bamukubye enguumi n'azirikira mu miguwa

OMUGGUNZI w’enguumi Pius Siriro azirikidde mu miguwa bwe bamukubye enguumi n'asigalako kikuba mukono bwe babadde battunka mu liigi y’eggwanga eya ‘UBF Boxing Champions League’ mu kiro ekikeesezza leero ku Ssande.

Abasawo nga beekebejja Tukamuheebwa
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

Siriro ng’ebikonde abizannyira Sparks Boxing Club akubiddwa Joshua Tukamuhebwa owa East Coast Boxing Club n'azirika nga kyetaagisizza abasawo okumujjanjabira eddakiika ezaasobye mu 10 nga tamanyi biri ku nsi.

Baabadde battunkira mu buzito bwa light kiro 64 ku MTN Arena e Lugogo.

Olulwana luno lwabadde lwa kugenda lawundi 5 kyokka wadde Siriro yeerwanyeeko teyasimattuse lawundi yaakuna.