Lwakataka ne Nakaayi beetisse engule za Fortebet eza February

OMUVULUMUZI w’emmotoka z’empaka Ponsiano ‘Mafu Mafu’ Lwakataka n’omuddusi Halima Nakaayi beetisse engule za ‘Fortebet Real Star Monthly Awards’ ez’omwezi oguwedde.

Lwakataka ne Nakaayi beetisse engule za Fortebet eza February
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Lwakataka #Nakaayi #engule

Bya Fred Kisekka

OMUVULUMUZI w’emmotoka z’empaka Ponsiano ‘Mafu Mafu’ Lwakataka n’omuddusi Halima Nakaayi beetisse engule za ‘Fortebet Real Star Monthly Awards’ ez’omwezi oguwedde.

Omukolo kwe babakwasirizza engule zino gubadde ku ‘Route 256’ e Lugogo.

Lwakataka ameze bavuzi banne okuli; Arthur Blick ne Hassan Alwi olw’okuwangula EMC Kaliro Sugar ezaabadde e Jinja omwezi oguwedde.

Nakaayi anywedde mu banne akendo olw’okuwangula omudaali gw’ekikomo mu misinde gy’ensi yonna egya ‘World Athletics Indoor Championship’ mita 800 egyabadde mu kibuga Belgrade ekya Serbia.

Mu bawanguzi abalala; Moreen Mwamula omuyizi wa Ndejje University yasinze mu ba Volleyball, Lukia Naiga n’awangula ey’omuzannyi wa Pool ow’omwezi oguwedde, Elvis Ngonde omuwuwutanyi wa Busoga Utd n’asinga mu mupiira ate Nobert Okenyi owa kiraabu ya Heathens n’asinga mu rugby.

Isaac Mukasa omutegesi w’engule zino ne Alex Muhangi ambasada wa ‘Fortebet’ be babakwasiza engule zino.