Rugomoka ne Hakim Mawanda amusomera maapu babinuka massejjere

OMUVUZI w’emmotoka z’empaka Byron Rugomoka asambira nnyuma nga jjanzi oluvannyuma lw’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga okuvaayo ne kimulangirira nga kyampiyoni wa sizoni ewedde.

Rugomoka ne Hakim Mawanda amusomera maapu babinuka masejjere
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Okusalawo kuno kubadde kumaze omwezi mulamba ng’akakiiko kakyalemeddwa okuvaayo n’omuwanguzi w’engule y’eggwanga eya NRC sizoni ewedde wakati wa Rugomoka, Ponsiano Lwakataka ne Jonas Kansiime.

Kino kyaddirira Lwakataka yawandiikira FMU ng’asaba akakiiko katunule mu bubonero obw’aweebwa Rugomoka ne Kansiime mu mpaka z’e Kaliro bwe baagaana okujja awagabirwa ebirabo by’abawanguzi ky’agamba nti kimenya mateeka. 

Kansiime naye teyali mumativu n’engeri emmotoka ye ekika kya Mitshubish EVO 8, gy’ebadde eweebwamu obubonero, nga yeemulugunya nti abadde aweebwa obubonero butono kw’obwo mmotoka ye bw’erina okufuna mu buli mpaka.

Bino byonna byagenda okubaawo nga Rugomoka awangudde empaka ez’aggalawo kalenda ya FMU eza Kigezi Boona-Rukungiri Rally era n’akulembera ku ngule ya NRC n’obubonero 354, Kansiime 351.5 ne Lwakataka 332.

Ku Lwokuna (January 26, 2023), akakiiko ka FMU akabadde katunula mu nsonga zino kaavuddeyo ne kavaayo n’okusalawo okw’enkomeredde;

“Rugomoka teyagenda ku katuuti okwayanjulirwa omuwanguzi w’empaka z’e Kaliro olw’ensonga nti abategesi tebaalambika bulungi wa akatuuti gye kaali ate abamu ne babuzaabuzibwa nti akatuuti kaali ka muwanguzi y’ekka kyokka Rugomoka yali amalidde mu kifo kyakusatu.

Wabula oluvannyuma Rugomoka yazuula abategesi gye baali bagabira ebirabo by’abo abeetaba mu mapaka zino era n’abeerawo nga bigabwa. Okusala kulaga nti Rugomoka yasigazza obubonero bwe yaweebwa mu mpaka ezo, wabula n’atanzibwa akakadde kamu n’emitwalo 50, lwa butafaayo kunoonya katuuti gye kaali.

Okunoonyereza era kwazudde nti Kansiime eyali amalidde mu kifo ekyokubiri, ye teyatawaana kugenda ku katuuti gye kaali ate n’awaali wagabirwa ebirabo teyagendayo, era ono yaggyiddwaako obubonero bwonna obwali bumuweeredde mu mpaka z’e Kaliro.

Era akakiiko k’asazeewo nti Rugomoka asigaze obubonero bwonna 354 bw’akung’aanyizza sizoni ewedde ekimufudde kyampiyoni, Lwakataka mu kyokubiri (332) ne Kansiime kyakusatu.