Vipers etimpudde URA 3-0 ne yeggyako ekikwa

ROBERTO Oliviera omutendesi wa Vipers yakoze ebyafaayo n’omutendesi Omuzungu asoose okujja obubonero busatu ku kisaawe kya Visions of Arena URA FC gy’ekyaliza emipiira gyayo egya liigi ya Startimes Uganda Premier League e Ndejje. 

Vipers etimpudde URA 3-0 ne yeggyako ekikwa
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision

URA FC 0-3 VIPERS SC

Eggulo ku lwokubiri, Oliviera yegasse ku Wasswa Bbosa okujja obubonero e Ndejje kuba sizoni eno babadde tebannakubirwako waka mupiira gwonna. 

Sizoni ewedde, Bbosa yalumba URA ng’egiwangulira ku ggoolo 1-0 eyateebwa George Ssenkaaba. 

Vipers yayingidde ensiike eno ng’eyagala maliri gwokka okwenywereza ku ntikko ya liigi era bagiyingidde nga tebalina ssuubi lyonna liggya bubonero ku URA, wabula Halid Lwalilwa, Cesar Manzoki ne Yunus Sentamu beggyeko ekikwa. 

Buno bwe bwabadde obuwanguzi bwa Vipers obusooka ku kisaawe kya Visions of Arena okumala sizoni ebiri zebazannyideyo. Vipers yeeyongedde okwenywereza ku ntikko y'ekimeeza n’obubonero 55 mipiira 23. 

Ura 0 3 Vipers7

Ura 0 3 Vipers7