Ebyemizannyo

Aba Crested Cranes bajaganyirizzaako Nasuuna okuweza ggoolo 100

CRESTED Cranes ttiimu y’eggwanga Enkulu ey’abakazi abasamba omupiira, kata bafe essanyu nga bajagulizaako muzannyi munnaabwe Hasifa Nassuuna olw'okuteekawo ekyafaayo ky’omuzannyi asoose okuweza ggoolo 100 mu mupiira gw’abakazi bukya gutandika mu 2015.

Aba Crested Cranes bajaganyirizzaako Nasuuna okuweza ggoolo 100
By: Gerald Kikulwe, Journalist @New Vision

Ekyafaayo kino Nassuuna yakitaddewo mu mupiira UCU ttiimu gy’azannyira bwe yabadde ekubwa Kampala Queens (2-1) ku kisaawe kya IUIU e Kabojja, ggoolo yokka Nassuuna gye yateebye gye yabadde yetaaga okuweza ggoolo 100 awatali muzannyi wa Uganda mukazi yali akikoze mu byafaayo.

Ku wiikendi bazannyi banne aba Crested Cranes abali mu nkambi ku Paradise Hotel Kisaasi nga beetegekera empaka za ‘2022 CECAFA Women Championship’ baamwanirizza mu ssanyu ne bamukolera akabaga akamukulisa okutuuka ku kkula lino.

Nassuuna mu bigambo bye yategeezezza nga kati bw’atakyalina kukakasa kulala mu mupiira gwa Uganda era ne yeebaza bonna abazze bamukwatirako okutuuka ku kkula lino wabula n’akugira ng’agamba nti kati atunuulidde kugenda kuzannya ppulo.

“Buli kimu nkikoze mu mupiira gwa Uganda, sikyalina kipya kyennyongerako era kati ntunuulidde ssaawa yonna kugenda kuzannya gwa nsimbi nsobole okwongera okuwandiika ebyafaayo,” Nassuuna bwe yategeezezza.

Omupiira gw’abakazi mu ggwanga gwatandika ne ‘FUFA Women Elite League’ nga February 15, 2015 ku kisaawe ky’e Nabweru, ggoolo ya Nassuuna eyasooka yagiteeba Kakira WFC mu 2015 ng’azannyira Kawempe Moslem Ladies FC. Omupiira ogwo Kawempe yaguwangula ggoolo 7-0.

Nassuuna abadde muzannyi wa byafaayo nti sizoni ye eyasooka mwe yateebera ggoolo 14, ttiimu ye eya Kawempe Moslem Ladies be baawangula ekikopo kya FUFA women Elite League sizoni eyasookera ddala mu 2015, emyaka esatu egy’omuddiring’anwa Kawempe be baali ba kyampiyoni nga Nassuuna y’omu ku mpagi ezeesigamwako.

Nassuuna y’alina likodi y’omuzannyi omukazi akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu sizoni emu ey’omupiira gw’abakazi wano mu ggwanga, sizoni ya 2017 yateeba ggoolo 26, n’okutuuka leero teri muzannyi yali azzeemu kuziweza, ne Nassuuna mwennyini taddangamu kuziweza.

Ono bwe yeegatta ku UCU lady cardinals FC mu 2018, yabawangulira ekikopo Uganda Cup w’abakazi, n’abayamba n’okutwala ekya liigi (FUFA Women Elite), ye yali omuzannyi wa sizoni (MVP) era omuzannyi eyasinga ggoolo ennyingi (18).

Nassuuna mu 2016 yalondebwa ng’omuzannyi w’omwaka n’asitukira mmotoka kapyata eya (Aitel FUFA Awards), sizoni eno alina ggoolo 9, enjawulo ya ggoolo nnya (4) emabega wa Fazirah Ikwaput owa Lady Doves alina ggoolo 13.

Nassuuna

Nassuuna

Ebitonotono ku Nassuuna

Erinnya: Hasifah Nassuuna

Yazaalibwa: February 10, 1997

Maama: Annet Nakimbugwe

Taata: Abbas Mukiibi

Essomero; Pulayimale ku Nsumba P/S, Kawempe Moslem (sinniya), University (UCU).

GGOOLO ZA LIIGI

2015 – (14)

2015/16 – (18)

2016/17 – (26)

2017/18 – (10)

2018/ 19 – (18)

2019/20 – (2)

Ebiralala

Abadde MVP (2015, 2016, 2018/2019

Abadde omuteebi wa sizoni; 2016/17 ne 2018/19

Tags: