Mawejje annyuse omupiira

May 18, 2022

Mawejje okuva lwe yakomawo mu Uganda, azannyidde Police sizoni 2 wadde nga yali waakuzannya emu.

NewVision Reporter
@NewVision

Tony Mawejje annyuse omupiira oluvannyuma lw’emyaka 19 ng’azannya mu kiraabu ez’enjawulo. Mawejje, abadde kapiteeni wa Police FC eyasaliddwaako okudda mu Big League, akoma Lwamukaaga nga Police ekyalidde bakyampiyoni (aba Vipers) mu guggalawo ‘StarTimes Uganda Premier League’.  

Yagambye nti abadde akyasobola okuzannya wabula alina okulekera abazannyi abato basobole okukulaakulanya ebitone byabwe kuba omupiira tagenda kugufiirako. 


“Kye nnabala kigaanyi naye okusalawo kwa Katonda tebakuteesaako, ssaayagala kunnyuka mupiira butereevu nga nva ku pulo. Nnali mbaze kuzannyira Police sizoni emu abawagizi bange basobole okundabako olwo nnyinyuke bulungi naye kigaanyi kuba Police bagisazeeko busazi,” Mawejje bwe yategeezezza 


Mawejje 35, yeegatta ku Police mu 2020 ng’ava mu Al-Arabi SC ey’e Kuwait ku ndagaano ya mwaka gumu kyokka COVID-19 we yajjira sizoni n’eyimirizibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});