Tony Mawejje asabye bamusaayimuto okugondera abatendesi basobole okufuna mu mupiira
Dec 06, 2022
Mawejje, eyabadde ku kisaawe kya Gangu Rangers Playground e Gangu ku lw’e Busaabala yazze kwogerako eri abaana abato bano okubaagazisa okwenyigira mu mupiira n’okukuza ebitone byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
EYALIKO omuwuwuttanyi wa Uganda Cranes, Tony Mawejje asabye bamusaayimuto okubeera abawulize eri abantu abakulu naddala ababatendeka kuba nga y’engeri yokka gye bajja okuganyulwa mu kusamba omupiira.
Mawejje, eyabadde ku kisaawe kya Gangu Rangers Playground e Gangu ku lw’e Busaabala yazze kwogerako eri abaana abato bano okubaagazisa okwenyigira mu mupiira n’okukuza ebitone byabwe.
Akulira WEHAT Foundation, Roy Mugisha ng'akwasa kapiteeni wa Seruganda Avant Mugera ekikopo kye baawangudde oluvannyuma lw'okukuba Spirit Soccer Academy 3-2 mu peneti.
Ng’ayogerako eri abaana bano, Mawejje yagambye engeri yokka gy’oyinza okutuuka ku buwanguzi mu mupiira ya kubeera muwulize eri abantu abakulu naddala abatendesi kw’ossa okubeera n’empisa.
Kuno yayongeddeko okukubiriza abazannyi abato okuzannya omupiira nga bongerezaako okusoma kuba y’engeri yokka gye bajja okumalako mu bulamu bw’ensi eno.
Ono yabadde ku mpaka ez’olunaku lumu ze baayise ‘Wehats Soccer Gala.’
No Comment