Uganda Cranes etiisa - Owa South Afrika
Nov 13, 2024
South Afrika tegenda kuba na bazannyi okuli; Percy Tau, Mihlali Mayambela ne Grant Kekana abaafunye obuvune wabula Broos yagumizza abawagizi nti abaliwo abawadde obukodyo obumala okuwangulira Cranes e Namboole kuba buli ali mu nkambi ali mu mbeera nnungi.

NewVision Reporter
@NewVision
Lwakutaano mu za Afrika e Namboole
Cranes - South Afrika, 10:00
OMUTENDESI wa South Afrika, Hugo Broos atidde Uganda Cranes bw'agambye nti ekaluba nnyo naddala ng’eri Namboole kuba tekkiriza ttiimu ng'enyi kwetaaya na mupiira.
Yabyogeredde mu lukiiko lwa bannamawulire b'e South Afrika oluvannyuma lw’okutendekebwa nga beetegekera okuttunka ne Cranes ku Lwokutaano mu gusunsula abalizannya eza Afrika omwaka ogujja e Morocco.
“Si kyangu kukuba Uganda omwayo kuba ezannya nnyo omupiira gw’okunyigiriza,” Broos bwe yeekengedde.
South Afrika tegenda kuba na bazannyi okuli; Percy Tau, Mihlali Mayambela ne Grant Kekana abaafunye obuvune wabula Broos yagumizza abawagizi nti abaliwo abawadde obukodyo obumala okuwangulira Cranes e Namboole kuba buli ali mu nkambi ali mu mbeera nnungi.
“Wadde omupiira guno muzibu nnyo, ng'enda kuyungula ttiimu ekube Uganda kuba twagala kuyitiramu Kampala. Omwaka guno twagutandika bulungi bwe twamalira mu kyokusatu mu AFCON ewedde era kigenda kutukola bulungi okugumalako nga tukubye Cranes ne tuyitamu,” bwe yagaseeko.
Broos owa South Afrika.
Mu gwasooka, baalemagana (2-2) e South Afrika. Cranes y’ekulembedde ekibinja K ku bubonero 10, South Afrika erina 8, Congo Brazzaville (4) ate South Sudan terinayo. Cranes yeetaaga maliri okuyitawo ate South Afrika erwana kuwangula okugenda ku bubonero 11 ekiike.
Oluvannyuma lw’omupiira guno, Cranes erina okukyalira Congo Brazzaville ate South Afrika ekyaze South Sudan mu gusembayo. South Afrika esuubirwa kutuuka nkya (Lwakuna).
Khalid Aucho (ku ddyo) ng'attunka ne Hakim Kiwanuka mu kutendekebwa eggulo..
CRANES EJUDDE
Eggulo, abazannyi bonna 26 beeyanjudde mu nkambi ekyawadde omutendesi, Paul Put amaanyi. Mu kutendekebwa kw’eggulo e Namboole, essira Put yasinze kulissa mu kuyigiriza bazannyi butaganya mulabe kubeera na mupiira ate nga bwe bagubba, bazannyisa sipiidi.
Oluvannyuma baazannye ekisaawe ekiramba mwe yalondedde ttiimu 2. Esuubirwa okutandika yabaddemu Ismail Watenga, Kenneth Ssemakula, Azizi Kayondo, Bevis Mugabi, Taddeo Lwanga, Khalid Aucho, Allan Okello, Jude Semugabi, Denis Omedi ne Calvin Kabuye sso ng'endala yabaddemu Alionz Nifian, Garvin Kizito, Isaac Muleme, Geoffrey Wasswa, Halid Lwaliwa, Ronald Sekiganda, Bobos Byaruhanga, Said Mayanja, Travis Mutyaba ne Steven Mukwala.
Rogers Mato yabadde azannyira ttiimu zombi nga buli afuna omupiira asobola okumuwa.
No Comment