She Cranes ekomyewo yeepika

Nov 13, 2024

"Okukuba Bungereza, South Afrika ne Jamaica kitufuula ab'enjawulo. Tetulina kuzikiza okutuusa nga tusitukidde mu kya Afrika"

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI w'ekibiina ky'okubaka omuggya Jocyne Ucanda asabye abazannyi ba She Cranes okukuuma omutindo gwe baayolesezza e New Zealand mu mpaka za Fast 5 Series nga bwe beetegekera eza Afrika omwezi ogujja.

Abazannyi ba She Cranes e Ntebe.

Abazannyi ba She Cranes e Ntebe.


Ucanda, yabadde ku kisaawe e Ntebe ng'ayaniriza She Cranes eyakomyewo mu mpaka za FAST 5 gye baakwatidde ekyokusatu.
Yawangudde omudaali ogwasookedde ddala mu byafaayo ku ddaala ly'ensi yonna. Yakubye South Africa mu kulwanira ekifo ekyokusatu. 
Oluvannyuma lw'empaka zino, kati etunuulidde mpaka za Afrika ezigenda okuzannyibwa wakati wa December 9-14 mu Namibia.
"Okukuba Bungereza, South Afrika ne Jamaica kitufuula ab'enjawulo. Tetulina kuzikiza okutuusa nga tusitukidde mu kya Afrika," Ucanda bwe yategeezezza.

Shadia Nassanga owa She Cranes ng'atuuka e Ntebe.

Shadia Nassanga owa She Cranes ng'atuuka e Ntebe.


Agamba nti omulundi guno, ttiimu egenda kuyingira enkambi mu bwangu, okwawukanako bwe kyabadde nga bagenda mu FAST 5 gye baatendekeddwa wiiki 3 olw'omuyaga ogubadde mu kibiina ky'okubaka.
"Abazannyi tugenda kubawa ennaku ntono okuwummula, tubagatteko bannaabwe okutandika okutendekebwa. Tetusobola kukkiriza ttiimu za Afrika kutukinako ng'ate twakubye Abazungu," Ucanda bwe yaweze.
Uganda erina ebya Afrika 3 ng'enoonya kyakuna ssinga ewangula ez'omwaka guno.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});