She Cranes erwana kuddamu kujooga Wales ng'efundikira obugenyi obw'ennaku 5
Jan 13, 2024
LEERO ku Lwomukaaga nga January 13, 2024, She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka lw’efundikira obugenyi obw’ennaku ettaano mu kibuga Cardiff ekya Wale

NewVision Reporter
@NewVision
LEERO ku Lwomukaaga nga January 13, 2024, She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka lw’efundikira obugenyi obw’ennaku ettaano mu kibuga Cardiff ekya Wales mu Bulaaya gy’ezannye ensiike ssatu ez’omukwano ne Welsh Feathers bannyinimu.
Eggulo Lwakutaano baafunye wiini esooka ku bugenyi buno bwe baakubye Welsh Feathers (64-40) mu nsiike ey’omukwano eyookubiri ku kisaawe kya House of Sport, Clos Parc Morgannwg mu Cardiff.
Mary Nuba Ng'annyonnyola.
Ku Lwokusatu lwa wiiki wedde nga January 10, 2024, bannyinimu aba Welsh Feathers ttiimu y’eggwanga lya Wales ey’okubaka baayanirizza She Cranes ku bugenyi buno n’obusungu bwe baabakubye ggolu 57 ku 45 mu nsiike ey’omukwano eyasoose (Wales International Netball Series).
Leeron ga January 13, 2024 lwe badding’ana mu nsiike eyookusatu efundikira obugenyi ku kisaawe kya House of Sport, Clos Parc Morgannwg mu Cardiff, nga ttiimu zombi zaagala wiini eyookubiri okufuna obubonero obuyinza okwongera obuzito ku bifo byabwe eby’ensengeka z’omuzannyo mu nsi yonna.
Omuteebi wa She Cranes Mary Nuba Cholhok azannya pulo mu Loughborough Lightning mu liigi ya babinywera ey’okubaka mu Bungereza, asabye bazannyi banne obuteeyibaala na wiini gye baafunye wabula bongere kutabukira Wales okugiggyako obuwanguzi obwokubiri.
Aba She Cranes Mu Kisaawe.
“Twazzeeyo ne tutunuulira ensobi zaffe mu nsiike eyasooka nga tukubwa (57-45), buli muzannyi yawulira bubi kuba Uganda ebadde tekyakubwa Wales kuva mu 2015.
Eno y’ensonga lwaki twafunye obuwanguzi mu nsiike eyookubiri era tugenda kwongeramu amaanyi teri kuddiriza ne mu nsiike eno esembayo, twagala wiini,” Nuba bwe yategeezezza.
Oluvannyuma lw’obugenyi buno, She Cranes yaakusala eddiiro okugenda mu Kibuga Wembley ne Leeds mu Bungereza okwetaba mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezitandika ku Lwomukaaga olujja nga January 20, 2024 zikomekkerezebwe nga January 28,2024.
No Comment