Ensi ezikyasinze okuwangula AFCON

Jan 13, 2024

Nga twolekera okuggulawo empaka za AFCON 2023, olwaleero, tukuleetedde ensi ezikyasinze okuwangula ekikopo kino bukya kitandikibwawo.

NewVision Reporter
@NewVision

Nga twolekera okuggulawo empaka za AFCON 2023, olwaleero, tukuleetedde ensi ezikyasinze okuwangula ekikopo kino bukya kitandikibwawo.

MISIRI (Egypt) ye yaakasinga okuwangula ekikopo kino mu byafaayo ng'ekitutte emirundi musanvu (7) ku egyo 33 gye kyakabeerawo, era babadde bakwata kyakubiri mu mirundi ebiri egisembyeyo omuli ogwa 2017 ne 2021.

Cameroon be baddako nga bo bakitutte emirundi etaano (5), n'eddirirwa Ghana eyaakakitwala emirundi ena (4) wabula ng'okuva mu 1982 ebadde ekikonga lusu.

Nigeria y'eddako ng'ekitutte emirundi esatu (3), olwo Ivory Coast, Algeria ne DR Congo ne baddako nga buli omu akiwangudde emirundi ebiri (3).

Sadio Mane owa Senegal

Sadio Mane owa Senegal

Mu baakakiwangula omulundi ogumu (1) mulimu: Senegal bannantameggwa baakyo ne Morocco, ebalibwa ng'esinga okucanga akapiira ku lukalu lw'Omuddugavu mu kiseera kino nga yakiwangula mu 1976.

Mu abalala abakiwangudde omulundi ogumu kuliko: Tunisia, Zambia, Sudan, Ethiopia, South Africa ne Republic of the Congo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});