Micho asudde 4 mu gwa AFCON 2023 ne Algeria

May 29, 2022

MILUTIN Sredejovic Micho omutendesi wa ‘The Cranes’ ttiimu y’eggwanga enkulu ey’omupiira, alese abazannyi bana mu nkambi nga ttiimu esitula okugenda e Tunisia okwetegekera Algeria.

NewVision Reporter
@NewVision

2023 AFCON qualifiers

Algeria – Uganda (June 4, 2022)

Uganda – Niger (June 8, 2022)

Moses Aliro (Wakiso Giants), Denis Otim (Express), Najib Yiga (Vipers) ne Rogers Mato (KCCA) be basigadde ku Paradise Hotel e Kisasi ttiimu gy’ebadde esuzibwa ng’etendekebwa okumala wiiki bbiri emabega.

Abazannyi 16 be baasitudde eggulo May 28, 2022 okwesogga eggwanga lya Tunisia gye bagenda okukuba enkambi nga beetegekera okuzannya Algeria ku Lwomukaaga lwa wiiki ejja (June 4, 2022) mu nsiike esooka ey’ekibinja F mwe bali ne Niger wamu ne Tanzania.

Micho

Micho

Abazannyi abaagenze

Charles Lukwago, Nafian Alionzi, Gavin Kizito, Halid Lwaliwa, Isaac Muleme, Enoch Walusimbi, Musa Ramathan, Bobosi Byaruhanga, Milton Karisa, Martin Kizza, Farouk Miya, Emmanuel Okwi, James Penz Begesa, Marvin Youngman, Joseph Fahad Bayo ne Muhammad Shaban.

Bano baakwegattibwako bappulo okuli; Bevis Mugabi, Allan Okello, Allan Kyambadde, Elvis Bwomono, Aucho Khalid, Abdu Aziz Kayondo, Derrick Kakooza ne Steven Serwadda.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});