Vipers etutte Youngman owa Bright Stars
Jun 21, 2022
Vipers emeze URA ku kukansa ssita wa Bright Stars, Marvin Joseph Youngman.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUWUWUTTANYI wa Bright Stars, Marvin Joseph Youngman yegasse ku bannantameggwa ba liigi yababinywera aba Vipers oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo sizoni ewedde.
Kiraabu bbiri ezibadde zirwanira okukansa omuzannyi ono kubaddeko URA ne Vipers wabula nga bannantameggwa aba Vipers be bamwewangulidde.
Youngman sizoni ewedde yayamba ttiimu ye obutasalwako oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo nga kumpi buli mupiira ye yali ataasa ttiimu ye okusigala mu liigi yababinywera.
Omutindo gwe omulungi gwasikirizza omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredojevic okumuyita ku ttiimu y’eggwanga eyabadde yeetegekera ez’okusunsula abalyetaba mu AFCON 2023 era yazannya omupiira gwa Algeria.
Youngman yagambye nti ekirooto kye kyali ky’akuzannyira ku ttiimu y’eggwanga era omukisa bwe gwazze ogw’okwegatta ku Vipers seesiseemu kuba ttiimu nnene ate abatendesi abangi gye bakulabira.
Bright Stars yamalira mu kya 11 n’obubonero 36 mu mipiira 30.
No Comment