Uganda Cup; Eza ‘Super’ zitidde eza lejula
Mar 17, 2025
KYADDAAKI SC Villa yafunye ku buwanguzi bw’okubugenyi obusooka mu liigi ya babinywera sizoni eno bwe yakubye Bright Stars (3-1) e Kavumba. Ggoolo za Villa zaateebeddwa Patrick Kakande, Aslam Ssemakula ne Charles Lwanga sso nga eya Bright Stars yakubiddwa Nelson Senkatuuka.

NewVision Reporter
@NewVision
Egya liigi y’eggwanga
Vipers 1-0 Wakiso Giants
Bright Stars 1-3 Villa
BUL 2-1 URA
Kitara 1-1 Mbarara City
Maroons 1-3 NEC
Mu Stanbic Uganda Cup (9:00)
Gadaffi - Kitara e Jinja
Maroons - Police e Luzira
BUL - Total e Njeru
KYADDAAKI SC Villa yafunye ku buwanguzi bw’okubugenyi obusooka mu liigi ya babinywera sizoni eno bwe yakubye Bright Stars (3-1) e Kavumba. Ggoolo za Villa zaateebeddwa Patrick Kakande, Aslam Ssemakula ne Charles Lwanga sso nga eya Bright Stars yakubiddwa Nelson Senkatuuka.
Villa ebadde yasemba okufuna obuwanguzi mu May w’omwaka oguwedde bwe yakuba NEC (2-0) ogwaggalawo liigi ya sizoni ewedde. Mu ngeri y’emu Vipers ne NEC zikyetwala ku liigi ya babinywera oluvannyuma lwa zombi okuwangula. Vipers abakulembedde ku bubon-ero 49 baakubye Wakiso Giants 1-0 e Kitende ate NEC n’ewangula Maroons (3-1) e Luzira. Vipers esinga NEC eyookubiri obubonero 5 nga benkanya emipiira 20.
UGANDA CUP EZZEEMU
Olutalo lw’okwesogga ‘quarter’ y’empaka za Stanbic Uganda Cup, lutandika leero n’emipiira
3. Kitara abalina ekikopo kino bakyalidde Gadaffi e Jinja ate BUL abaakiwangula
mu 2022 bakyaza Total FC eyawandula Express. Omutedesi wa BUL, Abbey
Kikomeko yagambye nti buli ttiimu mu mpaka zino ekaluba era tebagenda
kusaagisa Total. Ku luzannya lwa ttiimu 32, Kitara yawandula CATDA (2-1) ate Gadaffi
n’ewangula Bushenyi Veterans (3-1) ku bugenyi. Guno mulundi gwakusatu oguddiring’ana mu mpaka z’omwaka guno nga Kitara ezannyira ku bugenyi. Omwaka oguwedde, Kitara yawandula Gadaffi ku luzannya lwa ttiimu 32. Mu ngeri y’emu, Police FC eyakubye Express ggoolo 2-1 mu liigi ya babinywera, ekyalira Maroons
e Luzira. Maroons yaggyamu Wakiso Giants ku luzannya lwa ttiimu 32
No Comment