AFCON 2023: Omuwanguzi wa kufuna Obukadde bwa Doola 7
Jan 13, 2024
EKIBIINA ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) kyongezza ssente okutuuka ku bitundu 40 ku 100 eri omusimbi omuwanguzi wa TotalEnergies Africa Cup of Nations (AFCON)2023 z'anaaddayo nayo eka.

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) kyongezza ssente okutuuka ku bitundu 40 ku 100 eri omusimbi omuwanguzi wa TotalEnergies Africa Cup of Nations (AFCON)2023 z'anaaddayo nayo eka.
Omuwanguzi wa kuweebwa ekikopo ne ssente obukadde bwa Doola za America 7, (US$7,000,000) owookubiri aweebwe obukadde bwa Doola za America 4,(US$4,000,000).
Buli ttiimu eneetuuka ku luzannya oluddirira olw'akamalirizo (semi final) ya kuweebwa obukadde ba Doola bubiri n'ekitundu (US$2,500,000).
So nga ttiimu omunaana ezinaatuuka ku luzannya olukulembera oluddirira olw'akamalirizo (quarter-final) buli emu ya kuweebwa akakadde ka Doola kamu n'emitwalo 30 (USD 1,300,000).
No Comment