Bassita 10 abasuubirwa okwetikka AFCON 2023
Jan 13, 2024
NG’ENSI yonna yeetegekera ekikopo ky’omupiira gw’ensi zi nnaggwano mu kugukyanga mu Africa, ekya Africa Cup of Nations ekitandika leero ku Lwomukaaga nga bannyinimu aba Ivory Coast battunka ne Guinea-Bissau, bano be bamu ku bassita abasuubirwa okwaka mu mpaka zino n’ensonga lwaki bwe kisuubirwa.

NewVision Reporter
@NewVision
NG’ENSI yonna yeetegekera ekikopo ky’omupiira gw’ensi zi nnaggwano mu kugukyanga mu Africa, ekya Africa Cup of Nations ekitandika leero ku Lwomukaaga nga bannyinimu aba Ivory Coast battunka ne Guinea-Bissau, bano be bamu ku bassita abasuubirwa okwaka mu mpaka zino n’ensonga lwaki bwe kisuubirwa.
1. Mohamed Salah: Misiri (Egypt)
Essuubi lya Misiri lyonna litudde ku bibegaabega bya Salah. Bwe kiba nga baakwongera ku likodi yaabwe ey’ebikopo bya AFCO omusanvu (7) bye baakawangula, emmunyeenye ya Liverpool eno erina okusitula banne bonna abaakazibwako erya ‘The Pharaohs’.
Salah
Misiri yakoma okuwangula AFCON mu 2010, kyokka bazze bakubwa ku fayinolo omuli eya 2017 n’esembyeyo eya 2021.
Mu mipiira 93 gye yaakazannya ku gw’eggwanga, Salah ayolesezza omutindo ogutali gwa bulijjo bw’ateebeddemu ggoolo 53 ng’okwo kw’asuubirwa okwongereza ne ku mulundi guno.
Mane
2. Sadio Mane: Senegal
Sadio Mane 31, ye muzannyi asinga ‘obunene’ ku ttiimu ya Senegal nga kyeyoleka lwatu bwe yalwala n’ateetaba mu mpaka za World Cup ekyali e Qatar, ttiimu ye, eyakazibwako erya Lions of Teranga n’evuya n’ekoma mu kibinja olw’obutabaawo bwe.
Mane eyaakateeba ggoolo 39 mu mipiira 100 gy’azannyidde eggwanga wa kusinziirwako nnyo okulaba nga Senegal erwana okweddiza ekikopo kino gye yawangudde mu 2022.
Victor
3. Victor Osimhen: Nigeria
Victor Osimhen yafuuka omuzannyi atunda nga kkeeki eyokya ku nkomerero ya sizoni ewedde, bwe yakulembera mu bateebi abaasinga okulengera akatimba mu liigi y’e Yitale eya Serie A, n’ayambako ne kiraabu ye eya Napoli okuwangula liigi gye yali yakoma okufuna mu 1990.
AFCON 2023 kye kikopo ekiri ku mutindo gw’ensi yonna Osimhen ky’agenda okusooka okwetabamu ng’asuubirwa okukuba obutimba ne Mukerere amwenye!
Osimheni 25, eyaakateebera Nigeria ggoolo 20 mu mipiira 27 gye yaakagizannyira ng’ono ye yawangula n’eky’omuzannyi wa Africa ow’omwaka 2023.
Kudus
4. Mohammed Kudus: Ghana
Kudus akakasizza nti muzannyi wa njawulo okuva lwe yeegesse ku West Ham ey’e Bungereza, ekitatera kubeera kyangu eri abazannyi ababeera bavudde mu liigi endala naddala Abaddugavu,
Kudus, 23 akwata kifo kya 12 mu basuubirwa okuteeba ggoolo ng’ali mu mupiira newankubadde muwuwuttanyi! Yaakateeba ggoolo 10 mu mipiira 24 gye yaakabazannyira West Ham era ng’alabibwa ng’emu ku mpagi luwaga eza Ghana.
Ghana emusuubira ‘okwaka’ bw’anaaba awerekera abooluganda ba Ayew n’omuteebi Inaki Williams.
Youssef En Nesyri
5. Youssef En-Nesyri: Morocco
Ono ye muteebi Morocco kw’esibidde olukoba. Yali mpagi luwaga mu kutuusa ttiimu eno ku mutendera gwa Semi mu mpaka za World Cup ezaabadde e Qatar omwaka oguwedde.
En-Nesyri 26, agucangira mu Seville ey’e Spain yaakateebera Morocco ggoolo 17 mu mipiira 61.
Onana
6. Andre Onana: Cameroon
Onana 27, akomyewo ku ggwanga; Kino kiyinza okubeera okusoomoozebwa eri omutendesi bwe baali baafuna obutakkaanya naye ate eri abawagizi ne bazannyi banne kya kujaganya.
Kisuubirwa nti obutakkaanya bwa Onana n'omutendesi Rigobert Song bwaweddewo era kyeyoleka lwatu nti nga y'ali mu miti gya Cameroon, ttiimu ye tejja kusigala kye kimu.
Mahrez
7. Riyad Mahrez: Algeria
Mahrez ye yali kapiteeni wa Algeria ng'ewangula AFCON mu 2019 kyokka ku mulundi guno obusobozi bwabwe bukyaliko ebibuuzo.
Omuwuwuttanyi ono y'omu yayase nnyo sizoni ewedde, Manchester City bwe yabadde ekukumba ebikopo okujula okubimala e Bulaaya bwe yabadde tannagenda mu kiraabu ya Al Ahli ey'omu liigi ya Saudi gy'akubira kati.
Mahrez 32, yaakateebera Algeria ggoolo 30 mu mipiira 89 era asuubirwa okutambulirwako ensonga ssinga banaabaako ekinene kye banaatuukako.
Pepe
8. Nicolas Pepe: Ivory Coast
Omuzannyi ono eyaliko ekyasinze okugulwa ebbeeyi ennene mu Arsenal tannalaga nsi busobozi bwe mu kukyanga omupiira era kisuubirwa nti kano ke kaseera akatuufu mw'ayinza okukikolera mu kikopo ekikyaziddwa mu ggwanga gy'ava.
Pepe yaakazannyira ensi ye emipiira 37 n'ateeba ggoolo 10. Ssinga anaakwatagana bulungi n'emmunyeenye za Ivory Coast nga; Wilfred Zaha ne Sebastien Haller agucangira mu Borussia Dortmund, bandiwunzika nga bawangudde ekikopo kino omulundi ogwokusatu okuva ku ekyo kye baawangula mu 1992 ne mu 2015.
Ziyech
9. Hakim Ziyech: Morocco
Morocco ye ttiimu eyayolesa omutindo ogw'amaanyi mu World Cup eyaakaggwa kyokka ekyalina okusoomoozebwa olw'okukaluubirizibwanga okuteeba ggoolo.
Ziyech bw'anaakola obulungi ng'ayambako En-Nesyri mu kukola ennyamba n'okuteeba bandyetikka ekikopo.
Ziyech muzannyi wa Chelsea ali ku bwazike mu Galatasaray, nga yaakateebera ensi ye ggoolo 20 mu mipiira 54.
Bissouma
10. Yves Bissouma: Mali
Mali lye limu ku mawanga agalina ttiimu ey'amaanyi era esuubirwa okuvuganya ku kikopo kino.
Mu mipiira omusanvu(7) gye basembye okuzannya bawanguddeko mukaaga (6) nga mwe muli ne gwe baawangudde nga bakubye Guinea-Bissau ku ggoolo 6 -2.
Bissouma 27, omuwuwuttanyi wa Tottenham y'omu ku batambulirako ensonga era asuubirwa okwefuga amakkati nga bazannya.
No Comment