Liverpool yawonye kaadi emmyuufu eyookusatu

Oct 03, 2023

DDIIFIRI Simon Hooper eyalamudde omupiira gwa Spurs ng’ekuba Liverpool (2-1), namusaasidde, ng'asse ggoolo ya Luis Diaz mu ddakiika ya 33 ng'akolera ku magezi ga VAR.

NewVision Reporter
@NewVision

DDIIFIRI Simon Hooper eyalamudde omupiira gwa Spurs ng’ekuba Liverpool (2-1), namusaasidde, ng'asse ggoolo ya Luis Diaz mu ddakiika ya 33 ng'akolera ku magezi ga VAR.

Eno ensobi yabadde ya kito nnyo. Ku nze eyabadde ku ttivvi, ndowooza nga kyabadde tekyetaagisa VAR kwetegereza ggoolo eyo. Omuyambi we, Simon Long yabadde ayagala VAR yeetegereze era y'ensonga lwaki yawanise.

Diaz we yafunidde omupiira okuva ewa Mac Allister, omuzibizi wa Spurs, Van de Van yabadde adduka agenda mu maaso wabula okugulu kwe kwabadde kukyali mabega nga kwe kwafudde Diaz okuba nti takuumye.
Ggoolo yabadde ntuufu. Ensobi eyo esobola okukyusisa ebivudde mu mupiira. Singa yabaliddwa, osanga omupiira gwandiwedde na lizaati ndala.
Okusalawo okw’amaanyi okulala kwabadde ku kaadi ya Curtis Jones emmyuufu mu ddakiika ya 26, oluvannyuma lwa VAR okuyita ddiifiri Hooper eyabadde asoose okumulaga eya kyenvu.

Kaadi eyo yabaddeyo. Jones yalinnye Yves Bissouma n’amannyo g'engatto ng'okugulu kwe kwegolodde bulungi, ate n’amulinnya mu nnyingo y’akakongovvule ng'okugulu kwa Bissouma kuli ku ttaka. Kyabadde kyangu Bissouma okumenyeka.

Baddiifiri wadde nga nabo bantu abasobola okusobya, bavumu nnyo. Ddiifiri Hooper teyatidde kuwa Diogo Jota naye owa Liverpool kaadi mmyuufu. Ono yafunye ya bulagajjavu.

Yakoonye Destiny Udogie ng'agenderera kumulemesa lulumba lulungi, waayise sikonda ntono, n'addamu kye kimu ng'ayongeddemu ku maanyi. Ne kaadi eyo nayo njikkiriza.

Omuwuwuttanyi wa Liverpool, Alexis Mac Allister naye yawonye okugobwa mu kisaawe, bwe yakubye James Maddison ddiifiri n’atayimiriza mupiira wabula mu kusituka mu bwangu, n’akuba Udogie. Awo ddiifiri kwe kumuwa eya kyenvu.

Etteeka likkiriza ddiifiri okulaga omuzannyi bw'atyo (akoze ebisobyo ebibiri ebiragisa kaadi eya kyenvu mu kiseera kye kimu) kaadi eza kyenvu bbiri olwo n’amwongerezaako emmyuufu. Naye osanga Hooper ekisobyo ekyakoleddwa ku Maddison teyakitutte nga kisobyo.

Omupiira ogwo tegwabadde mwangu eri Hooper kuba yagabye kaadi za kyenvu ezaawezeeko ng'alwanyisa kwonoona budde. Yalaze obuvumu obutasangika wabula ggoolo entuufu gye yasse n’emuzaalira akabasa.

Peneti zombi ezaaweereddwa Arsenal ng'ekuba Bournemouth (4-0) mu ndaba yange zaabadde ntuufu kyokka ManU yakaayanidde peneti emirundi ebiri ku gwa Crystal Palace kyokka ddiifiri teyagiwadde era yabadde mutuufu.

Omupiira okukoona ku mukono gw'omuzannyi tekitegeeza ‘handball’.
alitomusange12@gmail.com

0772624258 Ali Tomusange

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});