Spurs ekubye Arsenal bbusu ku Bissouma
Jun 15, 2022
Spurs okuleeta Bissouma emukubye bbusu okuva ku kiraabu endala ezibadde zimwagala okuli; Arsenal, Aston Villa ne Everton.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuwuwuttanyi Yves Bissouma wa kukola amaliriza okwegatta ku Spurs ng’ava mu Brighton ku bukadde bwa pawundi 25.
Bissouma 25 nzaalwa y’e Mali, ye muzannyi owookusatu okuleetebwa Spurs mu kadirisa kano oluvannyuma lw'okuleeta goolokipa Fraser Forster ne Ivan Perisic ku Lwokutaano oluwedde ng’akatale kaakagulwawo.
Spurs okuleeta Bissouma emukubye bbusu okuva ku kiraabu endala ezibadde zimwagala okuli; Arsenal, Aston Villa ne Everton.
Related Articles
No Comment