Arsenal esisinkanye Liverpool mu FA Cup
Dec 04, 2023
Liverpool yaakubiri mu Premier ku bubonero 31 kudda ngulu sizoni eno oluvannyuma lw’okuvumbeera sizoni ewedde era omutendesi waayo Jurgen Klopp agamba nti baagala kuwangula kikopo kya FA sizoni eno bakigatte ku kya Premier nakyo kye balwanira.

NewVision Reporter
@NewVision
Ku ttiimu ennene ebbiri kuli Arsenal ne Liverpool kuliko egenda okuwandukira ku luzannya lwa laawundi eyookusatu mu FA Cup.
Kiddiridde akalulu akaakwatiddwa ku Ssande okubasisinkanya. Arsenal, ekulembedde Premier sizoni eno ku bubonero 33, y’egenda okukyaza Liverpool ng’eri mu kaweefube w’okuwangula ekikopo kya FA Cup eky’e 14.
Liverpool yaakubiri mu Premier ku bubonero 31 kudda ngulu sizoni eno oluvannyuma lw’okuvumbeera sizoni ewedde era omutendesi waayo Jurgen Klopp agamba nti baagala kuwangula kikopo kya FA sizoni eno bakigatte ku kya Premier nakyo kye balwanira.
Liverpool yasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2021-2022 bwe yakuba Chelsea mu peneti sso nga Arsenal yasemba kukisitukiramu mu 2019-20 nga yakuba ttiimu y’emu ggoolo 2-1. Mu banene abalala, Man City yaakukyaza Huddlesfield Town, ManU ettunke ne Wigana, Chelsea yaakukyaza Preston sso nga Spurs ne Burnley nabo baakwabika.Emipiira gy’oluzannya luno gyakuzannyibwa omwezi ogujja.
Ttiimu bwe zinaakwatagana;
Luton Town vs Bolton Wanderers
Shrewsbury Town vs Wrexham or Yeovil
Arsenal vs Liverpool
Stoke City vs Brighton
Norwich vs Crewe / Bristol Rovers
West Ham vs Bristol City
Tottenham vs Burnley
Fulham vs Rotherham United
West Brom vs Aldershot or Stockport
Southampton vs Alfreton Town / Walsall
Wimbledon / Ramsgate vs Ipswich
Peterborough vs Leeds Utd
Millwall vs Leicester City
Watford vs Chesterfield/ Leyton Orient
Sunderland vs Newcastle United
Sheffield Wednesday vs Cardiff City
Crystal Palacevs Everton
Middlesbrough vs Aston Villa
Nottingham vs Blackpool /Forest Green
Wigan vs Manchester United
Manchester City vs Huddersfield
Blackburn Rovers vs Cambridge United
Gillingham vs Sheffield United
Swansea City vs Morecambe
Chelsea vs Preston North End
QPR vs Bournemouth
Coventry City vs Oxford United
Brentford vs Wolves
Plymouth vs Sutton United
Maidstone United vs Stevenage or Port Vale
Newport /Barnet vs Eastleigh / Reading
Hull City vs Birmingham
No Comment