Pochettino avudde mu Chelsea oluvannyuma lwa sizoni emu!
May 22, 2024
ABADDE omutendesi wa Chelsea, Mauricio Pochettino agisuddewo oluvannyuma lwa sizoni emu yokka oluvaABADDE omutendesi wa Chelsea, Mauricio Pochettino agisuddewo oluvannyuma lwa sizoni emu yokka oluvannyuma lw’okukkaanya n’abagitwala.nnyuma lw’okukkaanya n’abagitwala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABADDE omutendesi wa Chelsea, Mauricio Pochettino agisuddewo oluvannyuma lwa sizoni emu yokka oluvannyuma lw’okukkaanya n’abagitwala.
Pochettino, 52, yaweebwa ogw’okutendeka Chelsea nga July 1 2023 ku ndagaano ya myaka ebiri(2), nga mulimu n’akawaayiro ak’okumwongera omwaka omulala mulamba.
Omuargentina ono sizoni temubeeredde nnyangu naddala mu kitundu ekyasooka olw’okubeera n’abazannyi abapya abangi ng’alina okuyiiya engeri gy’abazannyisa ate n’okulwaza abawera ate ab’enkizo. Kyokka we bwatuukidde ku nkomerero ya sizoni ng’embeera eteredde era yawangudde emipiira etaano egy’omuddiring’anwa ekyayambye kiraabu eno okuva mu kifo eky’ekkumi n’emalira mu kyomukaaga mu Premier League.
Ono era yayambye Chelsea okukwata ekyokubiri mu kikopo kya Carabao Cup n’okutuuka ku ssemi mu kikopo kya FA Cup.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza, Pochettino yeebazizza abatwala Chelsea olw’okumuwa omulimu n’agamba nti akakasa nti w’agirese ejja kweyongera mu maaso n’okuvuganya okw’amaanyi.
Pochettino y’abadde omutendesi wa Chelsea ow’omukaaga mu myaka etaano oluvannyuma lw’okugoba abatendesi okwali: Thomas Tuchel ne Graham Potter, ekyavaako okuleeta Frank Lampard eyakola ng’omutendesi ow’ekiseera mu sizoni ya 2022-23.
Abatendesi abalala b’abadde atendeka nabo okuli: Jesus Perez, Miguel d’Agostino, Toni Jimenez ne Sebastiano Pochettino nabo bavudde mu Chelsea.
Chelsea ezannye emipiira 51 wansi wa Pochettino, n’ewangulako 27, n’ekubwa 14 n’ekola amaliriri emipiira 10.
No Comment