MUNNAYUGANDA charles Kagimu awangudde engule yomuvuzi wegaali zempaka asinga mu East Africa. Kagimu yalangiriddwa ku mukolo gwa Africa Cycling Excellence Awards ogwabadde mu kibuga Kigali ekya Rwanda.
Munnansi wa Eritrea Biniam Girmay yeyawangidde eza Africa mu basajja ate Kimberley Le Court owa Mauritius nawangula mu bakyala ate eggwanga lya Eritrea nerirondebwa nga eggwanga erisinga okuvuga egaali zempaka ku lukalu lwa Africa.
Abawanguzi abalala kwabaddeko munnansi wa Burkina Faso Paul Daumont, eyalondeddwa nga asinga mu bakyayiga abasajja ate Odette Nsengiyumva, owa Burundi nawangula mu bakyala mu East Africa.
Kagimu eyatandika okuvuga egaali zempaka mu 2014 yavuganyizza nabavuzi abalala 100 okuva mu East Africa nabawangula oluvannyuma lwokukola obulungi mu mpaka ezenjawulo zazze yeetabamu ku lukalu lwa Africa.Gyebuvuddeko kagimu yafuna egaali empya ekika kya Time Trial bike okuva e bufalansa eyamuweebwa gavumenti egenda okumuyamba okuyingira sizoni ejja nga talina kyeyekwasa.
Ebbula lyegaali eyomulembe lyamulemesa okweddiza engule ye eya African Time Trial Championship omwaka oguwedde. Kagimu kati atunuulidde kufuna bubonero obunaamuyisaawo okwetaba mu mpaka za olympics mu 2028 mu kibuga Los Angeles ekya Amerika.
Ono yoomu ku bannayuganda omusanvu abaweereddwa sikaala eza Los Angeles 2028 Olympic nga zaabaweereddwa akakiiko kebyemizannyo mu nsi yonna aka International Olympic Committee (IOC) nga kayita mu Uganda Olympic Committee (UOC).