Ebyemizannyo

Munnayuganda Sana Omprakash Asemberedde okuwangula omudaali gwa chess mu mpaka za chess e Zimbabwe

Munnayuganda Sana Omprakash Asemberedde okuwangula omudaali gwa chess mu mpaka za chess e Zimbabwe

Ronald Wabwire nga attunka ne munnakenya mu mpaka za chess e Zimbabwe
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Round eyomukaaga
U18 
E. Pido (UG)            1  L. Siyambonga (SA)    0
D. Ebimobo (NIG)    0  S. Omprakash (UG)    1

U16 
D. Zalwango (UG)    0   I. Hadjout (ALG)         1
S. Omprakash (UG  1/2   F. Shekupe (NAM)   1/2

U14 
E. Nalamalpu (BOT) 0  J. Asaba (UG)               1
P. Jugmohan (SA)    0    D. Odokonyero (UG   1
O. Samora (UG)       0    C. Otieno (KE)            1

U12 
M. Nwankwo (NIG)    1    A. Suhana (UG)         0
A. Kirabo (UG)          1/2 M. Dube (ZIM)         1/2
M. Iowan (SA)            1/2   R. Wabwire (UG)   1/2
R. Kimani (KE)           1 A. Ahumuza (UG)        0
O. Sankara (UG)        1   E. Madziranyika (ZIM) 0

U10 
N. Vankhedeka (ZAM)  1/2    T. Atubet (UG)   1/2
E. Tumusiime (UG)        1  J. Jiri (ZIM)             0

U8 
K. Upadhaya (ZIM)        0     P. Nicole (UG)    1
E. Kiggundu( UG)           0    N. Tadisa (ZIM)   1
S. Mulema (UG)             0     R. Mbhekei (SA) 1
A. Mtakiwa (ZIM)            0   A. Kagoda (UG)   1

Munnayuganda Sana Omprakash asemberedde okukola ebyafaayo oluvannuuma lw'okukuba omu Nigeria WCM Deborah Ere Ebimolo nalinnya ku ntikko yekimeeza kyabali wansi wemyaka 18 mu mpaka za Africa Youth Chess Championship (AYCC) eziyindira e Zimbabwe.
Deborah yabadde amaliridde okwesasuliza ku Sana oluvannyuma lwokukubwa omuzannyo gwe ogwasembyeyo olunaku olweggulo wabula munnayuganda tamuganyizza. 
Sana azannye omuzannyo guno nobwegendereza yadde nga abadde ku nnamba emu wa Africa mu mutendera guno.


Kati Sana akulembedde nobubonero 5.5 nga kati yetaaga okuwangula enzannya bbiri zokka okuwangula omudaali ogwa zaabu.
Mu balenzi munnayugabda Edwin Pido ayongedde okutangaaza emikisa gyokufunayo omudaali oluvannyuma lwokukuba omu South Africa Lirafu siyambonga nagenda ku bubonero buna okuva mu nzannya mukaaga.
Munnayuganda omulala asuubirwamu omudaali Juliet Asaba naye ayingidde olwokaano lwemidaali oluvanyuma lwokuwangula oluzannya lwe olwokutaano. Kati Asaba agenze ku bubonero butaano wabula nga omuzanyi gwazaako yomu ku basinga mu Africa.
Daniel Odokonyero naye azizza essuubi lya Uganda engulu mu bali wansi wemyaka 14 bwakubye omu South Africa Parag Jugmohan—eyasoose okukuba munnayuganda omulala Omara Sankara. Obuwanguzi buno butadde Odokonyero mu kifo ekyokumwanjo nobubonero 4.5.

Juliet Asaba nga attunka nomu Zambia mu mpaka za chess e Zimbabwe

Juliet Asaba nga attunka nomu Zambia mu mpaka za chess e Zimbabwe


Mu bali wansi wemyaka 10 Elvis Tumusiime ayongedde okulaga eryanyi bwawangudde omusannyo gwe ogwokusatu ogwomuddiringanwa oluvannyuma lwokukuba omu Zimbabwe Jiri Julian. 
Mu bawala Talia Atubet naye akomyewo mu kibalo bwakoze amaliri nomu Zambia Nikhil Vankhedeka asinga ku lukalu lwa Africa mu mutendera ogwo.
Kati Atubet azze mu kifo ekyokusatu ku bubonero 4.5 akabonero kamu emabega waakulembedde. 
Wabula ye Suhana tebimutambulidde bulungi mu mutendera gwabali wansi wemyaka 12 bwakubiddwa omu Nigeria Michelle Nwankwo mu lawundi eyomukaaga.

Talia Atubet nga attunka nomu Nigeria, baagudde maliri.

Talia Atubet nga attunka nomu Nigeria, baagudde maliri.


Yadde nga abamu ku bamusaayimuto bakubiddwa ssaabawandiisi wekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga Patrick Ojok mugumu nti ensolo ku kizigo kweri.  “Abamu ku baana baffe babadde bazannya abamu ku bazanyi abasinga obulungi mu Africa, naye nkakasa bakyasobola okulwana nebabaako kyebawangula” Ojok bwagambye.
Empaka ziddamu olunaku olwenkya nga Sana waakuttunka nomu Zambia Mhungu Matifadzashe alina obubonwro obuna