Mohamed Salah asigadde ku Liverpool

Apr 12, 2025

Mo Salah 32, endagaano eno egizzizza buggya leero ku Lwokutaano ng'amawulire gano gafulumiziddwa kiraabu ya Liverpool etegeezezza nti emwenyumirizaamu era ekakasa nti ng'ali nayo ya kwongera okuwangula ebikopo.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTEEBI wa club ya Liverpool, Mohamed Salah kyaddaaki asazeewo okusigala ku Liverpool bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri(2) eneemusigazaawo okutuusa mu June wa 2027.

Mo Salah 32, endagaano eno egizzizza buggya leero ku Lwokutaano ng'amawulire gano gafulumiziddwa kiraabu ya Liverpool etegeezezza nti emwenyumirizaamu era ekakasa nti ng'ali nayo ya kwongera okuwangula ebikopo.

Omumisiri ono yaakateeba ggoolo 32 mu bikopo byonna bye beetabyemu sizobi eno omuli n'eza liigi ya Bungereza eya Premier League 27 nga bwe beesunga okuwangula ekikopo kino omulundi ogwa 20.

 

Mu kiseera kino, Liverpool ekulembedde ekimeeza kya Premier n'obubonero 11 ng'ebuzaayo emipiira musanvu eggwe.

Salah yeegatta ku Liverpool ng'ava mu AC Roma eya Itale mu 2017 nga kitegeeza nti endagaano empya w'enaggweerako ajja kuba awezezza emyaka 10 mu Liverpool, mw'awangulidde ebikopo okuli: Champions League, Premier League, FA Cup, League Cup ne Fifa Club World Cup.

Kati Salah agenda kuba n'omukisa okwongera ku ggoolo 243 ne asisiti 109 ze yaakakola mu mipiira 393 gy'asambidde Liverpool.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});