Luke Shaw alwadde n'atiisa abawagizi ba ManU
Feb 12, 2024
Omuzannyi ono yaggyiddwaamu mu kitundu ekisooka nga ManU ewangula Aston Villa (2-1) ekyatiisizza abawagizi. Ttiimu ya Ten Hag eri mu lutalo lwa kumalira mu bana abasooka era eyagala kuggyayo Spurs ebasinga obubonero mukaaga.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa ManU, Erik ten Hag agumizza abawagizi ba ttiimu eyo nti omuzibizi waabwe, Luke Shaw teyafunye buvune bwa maanyi.
Omuzannyi ono yaggyiddwaamu mu kitundu ekisooka nga ManU ewangula Aston Villa (2-1) ekyatiisizza abawagizi. Ttiimu ya Ten Hag eri mu lutalo lwa kumalira mu bana abasooka era eyagala kuggyayo Spurs ebasinga obubonero mukaaga.
Mu kiseera kino yeetaaga abazannyi baayo bonna nga balamu okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
“Tugenda kwongera okwekebejja Luke Shaw kyokka okumuggya ku kisaawe, tekyabadde nti yabadde alwadde nnyo era yabadde akyasobola okuzannya kyokka twayagadde awummulemu,” Ten Hag bwe yagambye.
ManU ewangudde emipiira etaano ku mukaaga gy’esembyeyo okuzannya mu mpaka zonna. Kino kigiwadde amaanyi okuwaga nga bw’ejja okumalira mu bana abasooka.
No Comment