Spurs ekansizza Richarlison
Jun 30, 2022
Mu ddiiru ya Richarlison, kitegeerekese nti Spurs yaakusasula obukadde bwa paawundi 50 oluvannyuma esasule obulala 10 ku zeeyongeramu okusinziira ku bw'anaaba akoze.

NewVision Reporter
@NewVision
RICHARLISON yeetegekera kukola 'medical' mu nnaku ntono eziddako ng'agenda kugikolera Brazil olwo alangirirwe ng’omuzannyi wa Spurs. Ttiimu eno y’emu era eri ku ndeboolebo z'okugula omuzibizi Djed Spence okuva mu Middlesbrough ku bukadde 15 obwa Paawundi.
Richarlison bwe yali ajaguza ng'ateebedde Everton Ggoolomu Mujoozi Gwa Spurs
Mu ddiiru ya Richarlison, kitegeerekese nti Spurs yaakusasula obukadde bwa paawundi 50 oluvannyuma esasule obulala 10 ku zeeyongeramu okusinziira ku bw'anaaba akoze.
Richarlison waakufuuka omuzannyi owookuna okugulibwa Spurs mu kadirisa kano oluvannnyuma lw'okugula Fraser Forster, Ivan Perisic ne Yves Bissouma.
No Comment