Owa Turkey agumizza abawagizi ba ManU

Nov 22, 2023

Nga Cameroon ewangula Mauritius (3-0) mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2026, Onana, teyagumalaako lwa buvune bwe yafuna mu kkugunyu era ManU eri bulindaala okuwa Bayindir omukisa singa Onana taawone.

NewVision Reporter
@NewVision

Omutendesi wa Turkey, Vincenzo Montella agumizza abawagizi ba ManU nti bagume ggoolokipa waabwe Altay Bayindir gwe baagula mu Fenerbahce ajja kubakolera omulimu ogw’ettendo.

Ggoolokipa ono y’atunuuliddwa okusikira Andre Onana singa tassuuka mu budde obuvune bwe yafunidde ku ttiimu y’eggwanga.

Nga Cameroon ewangula Mauritius (3-0) mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2026, Onana, teyagumalaako lwa buvune bwe yafuna mu kkugunyu era ManU eri bulindaala okuwa Bayindir omukisa singa Onana taawone.

Onana teyazannye gwa nsiike ya Cameroon eyookubiri bwe baabadde balemagana (1-1) eggulo. Ku Ssande, ManU eyambalagana ne Everton mu Premier omupiira gwe yeetaaga okuwangula.

Montella agamba nti ggoolokipa ono yayolesa omutindo omusuffu ku gwa Wales ne Girimaani.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});