Gwe bawadde ogwa Man City ne Liverpool ayombya abawagizi
Nov 23, 2023
Ku Lwomukaaga, Liverpool ekyalira Man City mu Lutalo lw’okulondako akulembera Premier. Enjawulo ya kabonero kamu y’eri wakati wa Man City ekulembedde ku bubonero 28 ne Liverpool eyookubiri. Amaka mwe bazaala Kavanagh, gali mayiro 5 zokka okuva ku kisaawe kya Man City.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAGIZI ba Liverpool bayomba olw’akakiiko akatwala baddiifiri ba Premier okulonda Chris Kavanagh gwe baazaala okumpi kisaawe kya Etihad Stadium (amaka ga Man City) ng’agenda okulamula ensiike yaabwe.
Ddiifiri ng'awa Mac Allister kaadi emmyuufu.
Ku Lwomukaaga, Liverpool ekyalira Man City mu Lutalo lw’okulondako akulembera Premier. Enjawulo ya kabonero kamu y’eri wakati wa Man City ekulembedde ku bubonero 28 ne Liverpool eyookubiri. Amaka mwe bazaala Kavanagh, gali mayiro 5 zokka okuva ku kisaawe kya Man City.
Batabani ba Jurgen Klopp, baakulinnya ku ntikko singa bawangula Man City. Okulamula ensiike eno, Kavanagh agenda kuyambibwako Stuart Attwell ku VAR.
Guardiola ng'ayombesa Kavanagh.
Liverpool erina likodi ennungi mu mipiira Kavanagh gy’agiramudde ng’ewangudde 13 ku 15. Chelsea mu FA Cup ne Everton mu Premier ze zokka eziwangudde Liverpool nga ddiifiri ono yali mu mitambo.
Kavanagh, ye yalamula Man City ng’ekubwa Newcastle (1-0) mu Carabao Cup sizoni eno ate emipiira 2 gy’alamudde Liverpool sizoni eno gyonna egiwangudde.
No Comment