Ttiimu za Premier ziyise wagonda mu luzannya lwa ttiimu 16 mu FA Cup
Jan 29, 2024
Liverpool ye ttiimu eyakutte ku ttiimu erimu eggumba kyokka na nayo ya Championship.

NewVision Reporter
@NewVision
Oluzannya lwa ttiimu 16 mu FA Cup;
Blackburn /Wrexham v Newcastle
Chelsea/Aston Villa v Leeds Utd/Plymouth
Bournemouth v Leicester
Liverpool v Watford /Southampton
Bristol City /Nottingham v ManU
Wolves v Brighton
Sheffield Wed/Coventry v Maidstone Utd
Luton vs Man City
TTIIMU za Premier ennene ezikyali mu FA Cup zisekera mu kikonde oluvannyuma lw’akalulu ka ttiimu 16 mu mpaka zino okuziyisa awangu. Liverpool ye ttiimu eyakutte ku ttiimu erimu eggumba kyokka na nayo ya Championship.
Yaakukyaza anaawangula wakati wa Watford ne Southampton zombi ezizannyira mu Championship. Man City abalina ekikopo kino baakukyalira Luton sso nga ManU eyaggyeemu Newport yaakwambalagana n’anaawangula wakati wa Bristol City ne Nottingham Forest.
Singa Chelsea eneeyita ku Aston Villa nga badding’anye, yaakuttunka n’anaawangula ku Leeds United ne Plymouth. Oluzannya lwa ttiimu 16 lwakuzannyibwa mu wiiki eneetandika ku Mmande nga February 26
No Comment