Eyali owa Everton omujoozi aguwanise
Nov 29, 2023
Ku myaka 41, Jagielka yasaliddwaako mu Stoke City gy’abadde azannyira ku nkomerero ya sizoni ewedde. Okuva olwo, Omungereza ono abadde anoonya ttiimu emuwonya akatebe ebuze

NewVision Reporter
@NewVision
Oluvannyuma lw’okulemwa okufuna ttiimu empya sizoni eno, eyali omuzibizi wa Everton ne Bungereza, Phil Jagielka asazeewo annyuke omupiira.
Ku myaka 41, Jagielka yasaliddwaako mu Stoke City gy’abadde azannyira ku nkomerero ya sizoni ewedde. Okuva olwo, Omungereza ono abadde anoonya ttiimu emuwonya akatebe ebuze.
Yategeezezza abaamawulire nti agezezzaako okunoonya ttiimu endala gy’azannyira kyokka kigaanyi n’asalawo okukita. Yazannyirako Sheffield United (emipiira 287), Everton (emipiira 385).
Jagielka yasiimye nnyo bonna abamubeereddewo ekiseera ky’azannyidde omupiira n’asuubiza okwongera okuweereza omupiira mu ngeri endala.
No Comment