Fernandes akubye ebituli mu balonda omuzannyi w’olunaku
Nov 27, 2023
ManU yayongedde okulaga omutindo omulungi nga mu mipiira mukaaga egisembyeyo, ewanguddeko etaano.

NewVision Reporter
@NewVision
KAPITEENI wa ManU, Bruno Fernandes agambye nti yeewuunyizza abakulira Premier ekirabo ky’obuzannyi bw’olunaku okukira Alejandro Garnacho mu kifo kya musaayimuto Kobbie Mainoo.
Garnacho yateebye ggoolo amakula nga ManU ewangula Everton ggoolo 3-0 kyokka Fernandes agamba nti Mainoo ye yagwanidde ekirabo kino olw’omutindo gwe yayolesezza.
“Mainoo alina ttalanta etasangika. Tannafuuka muzannyi wa bulabe nnyo naye omutindo gw’alaze gwabadde musuffu nnyo era yagwanidde eky’obuzannyi bw’olunaku,” Fernandes bwe yagambye.
ManU yayongedde okulaga omutindo omulungi nga mu mipiira mukaaga egisembyeyo, ewanguddeko etaano. Anthony Martial yateebye ggoolo ye esooka mu Premier sizoni eno sso nga Marcus Rashford yateebye eyookubiri.
ManU yaakwambalagana ne Galatasaray ku Lwokusatu mu gusalawo oba eneesogga oluzannya lwa ttiimu 16 sso nga ku Lwomukaaga, yaakuttunka ne Newcastle mu Premier. Obuwanguzi bwa ManU mu Premier bwagiyambye okwenywereza mu kyomukaaga ku bubonero 24 mu mipiira 13.
No Comment