Musaayimuto wa ManU bamuwadde endagaano ensava
Dec 04, 2023
Kiddiridde omutindo omuzannyi ono gw’ayolesa ensangi zino oguviiriddeko n’okutuusa abamu ku bazannyi basiniya.

NewVision Reporter
@NewVision
MUSAAYIMUTO wa ManU, Kobbie Mainoo agudde mu bintu oluvannyuma lwa bakama be okusalawo bamwongeze omusaala.
Kiddiridde omutindo omuzannyi ono gw’ayolesa ensangi zino oguviiriddeko n’okutuusa abamu ku bazannyi basiniya.
Ensonda mu ManU zaategeezezza nti omuzannyi ono omusaala gwe gwakutuuka ku mitwalo gya pawundi 2 oba okweyongerako buli wiiki singa anaayongera okulaga omutindo.
Omuzannyi ono yayolesezza omutindo omusuffu nga bawangula Everton ggoolo 3-0 ssaako ne bwe baabadde balemagana ne Galatasaray ggoolo 3-3 mu Champions League ku Lwokusatu.
Kigambibwa nti waliwo ttiimu ezibadde zitandise okwetayirira omuzannyi ono zimupasule oluvannyuma lw’endagaano ye okuggwaako mu 2027.
No Comment