Uganda ekubye Tanzania n'etangaaza emikisa gy'okuzannya mu AFCON 2024
Mar 29, 2023
TIIMU y'omupiira ey'eggwanga, eya Uganda Cranes ewangudde eya Tanzaniya ku ggoolo 1-0, ne kitangaaza emikisa gyayo okuzannya mu kikopo kya Africa Cup of Nations ekya 2024.

NewVision Reporter
@NewVision
TIIMU y'omupiira ey'eggwanga, eya Uganda Cranes ewangudde eya Tanzaniya ku ggoolo 1-0, ne kitangaaza emikisa gyayo okuzannya mu kikopo kya Africa Cup of Nations ekya 2024.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Benjamin Mkapa Stadium (Tanzania National Main Stadium) mu kibuga Dar es Salam ekya Tanzania.
Omuteebi wa Uganda, Rogers Mato aguzannyira mu kiraabu ya KCCA FC ye yateebye ggoolo eno oluvannyuma lw'okuyingizibwamu ng'asikira kapiteeni, Emmanuel Okwi.
Ggoolo yagiteebedde mu ddaakiika ya ennyongeremu ng'eddakiika 90 ziweddeyo ekintu ekyayongedde Uganda essuubi ly'okuva mu kibinja.
Kati Uganda erina obubonero buna (4) okuva mu mipiira ena gye yaakazannya mu kibinja kino, nga yo Algeria ekikulembedde yayiseewo dda n'obubonero 12.
Uganda esigazzaayo emipiira ebiri omuli okukyaza Algeria n'okukyaza Niger ng'erina omukisa okuyitawo ssinga ewangula emipiira gin gyombi.
Kyokka omupiira guno gwataataaganyiziddwamu olw'okuvaako kw'amasannyalaze okwaleeseewo okuwummula kwa ddaakiika 26 okutuusa lwe gazzeeko olwo ddiifiri n'addamu okuyita abazannyi.
No Comment