Kya tteeka okwambala 'shin guard'
Apr 01, 2025
WIIKENDI ewedde, nnabadde ku Nakivubo Blue, nga Katereke Newlife SC ekyazizza Water FC, mu mpaka za ligyoni ya Kampala nga kalabaalaba. Amateeka ga FUFA galagira ttiimu ekyazizza okufunira ttiimu zombi obutebe naye wano tekyakoleddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
WIIKENDI ewedde, nnabadde ku Nakivubo Blue, nga Katereke Newlife SC ekyazizza Water FC, mu mpaka za ligyoni ya Kampala nga kalabaalaba. Amateeka ga FUFA galagira ttiimu ekyazizza okufunira ttiimu zombi obutebe naye wano tekyakoleddwa.
Omupiira gwawedde (0-0) kyokka ekyasinze okunkwatako ennyo z’empisa ezaayoleseddwa.
Kooci wa Katereke, Abbey Kavuma, gwe nabadde nninaanye yamazeeko eddakiika 90 nga talina kye yeemulugunya ku ddiifiri Joseph Masembe okuggyako okuduumira abazannyi be.
Ng'omupiira guwedde nneebazizza Kavuma era yang’ambye nti omutindo gwa baddiifiri gubadde mulungi nga talina kimuggyako ‘waya’. Wadde baddiifiri baabadde balungi, eriyo bakooci abaagufuula omulimu okubeemulugunyaako.
Katereke, ezannya omupiira ogunyuma kyokka yabadde n’abazannyi 7 bokka abalina ‘shin guard’! Bannange kkatala eri buli muzannyi okubeera ne ‘shin guards’ kuba tteeka nnamba 4 ate tekiba kya kwejalabya kuba kitaasa bulamu.
Aba Katereke, mulina okufuna ‘shin guards’ kuba kiswaza okuzannya omupiira omulungi ng’obuntu obutono bugaanyi.
No Comment