Ddiifiri Nabadda waakulamula ez'Afrika

Jun 18, 2022

SHAMIRAH Nabadda afuuse Munnayuganda owookusatu mu byafaayo okulamula mu mpaka z’ekikopo ky’Afrika mu mupiira gw’abakazi.

NewVision Reporter
@NewVision

2022 Africa Women Cup of Nations

Eggulo (Lwakutaano) erinnya lya Nabadda lyafulumidde ku lukalala lwa baddifiri 16 okuva mu CAF (ekibiina ekitwala omupiira mu Africa) abagenda okulamula mu mpaka za ‘2022 Africa Women Football Cup of Nations’ wakati wa July 2-23, 2022 mu kibuga Rabat ekya Morocco.

Catherine Adipo ne Aisha Ssemambo be Bannayuganda abaali bakikozeeko.

Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi) y’emu ku mawanga 16 agagenda okukiika mu kikopo kino nga mu kiseera kino bali mu nkambi ku Cranes Paradise Hotel e Kisaasi.

Uganda eri mu kibinja A omuli; Burkinafaso, Senegal ne Morocco abategesi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});