AMIR Kakomo ne Benson Muhindo bakwabulira SC Villa oluvannyuma lw’endagaano zaabwe okugwaako ku nkomerero y’omwezi guno.
Kigambibwa nti abazannyi bano bagaanyi okuzza endagaano zaabwe obuggya ne kiraabu eno oluvannyuma lw’obutabawa bye basaba.

Kakomo (ku dyo) ng'attunka n'owa Express.
Kakomo eyabadde omusaale ennyo sizoni ewedde nga ttiimu eno esigala mu liigi, yeegatta ku Villa mu 2018. Yaliko mu Kiboga Young, Juventus Namasuba, Ssingo, Buwekula ne Gomba mu z’Amasaza.