Abazzukulu ba Buganda mujjumbire emipiira gy'Ebika - Sarah Nkonge

Jul 14, 2022

“Mbakubiriza okweyiwa ku yunivasite ya St. Lawrence eri ku nnyanja ya Kabaka awangenda okubeera emipiira gy’Ebika egy’okubaka kuba kino kijja kubayamba okumanyagana.......

NewVision Reporter
@NewVision

OMUMYUKA wa ssentebe w’akakiiko akategeka emipiira gy’Ebika by’Abaganda nga y’avunaanyizibwa ku mupiira gw’okubaka muzzukulu lwa Lwomwa Dr. Sarah Nkonge Muwonge akubirizza Abaganda okweyiwa ku bisaawe ebyenjawulo mu bungi bawagire ebika byabwe nga bizannya kuba y’engeri yokka  gye bayinza okubimanya.

Richard Kirabira (emabega) ng'alumba Derrick Yiga (mu maaso) ow'Engabi Ennyunga.

Richard Kirabira (emabega) ng'alumba Derrick Yiga (mu maaso) ow'Engabi Ennyunga.

Nkonge, eyaliko meeya wa Kampala agamba nti, “Nneebaza Jjajja David Bbosa Lwomwa ne Katikiro Ssemukuutu ab’omuziro gw’Endiga gye nneddira olw’okukunga abazzukulu ne bajjumbira emipiira gy’Ekika ky’Endiga. Nkubiriza abakulu b’Ebika abalala okwagazisa bazzukulu baabwe emizannyo nga bajja okulaba emipiira gino.” Nkonge yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire olukiiko olutegesi bwe lwabadde lulambika engeri y’okutambuzaamu emipiira gy’Ebika egy’okubaka.

“Mbakubiriza okweyiwa ku yunivasite ya St. Lawrence eri ku nnyanja ya Kabaka awangenda okubeera emipiira gy’Ebika egy’okubaka kuba kino kijja kubayamba okumanyagana,” Nkonge bwe yayongeddeko.

Ebika 26 bye bigenda okwetaba mu z’okubaka ezigenda okuzinda ku Lwomukaaga nga July 16 okutandika ku ssaawa 3 ez’oku makya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});