Kiplimo agumizza Bannayuganda

Mu Commonwealth, Kiplimo waakuvuganya mmita 10,000 ne 5,000 nga Bannayuganda bangi bamulinamu essuubi ly’okukomawo n’omudaali.

Jacob Kiplimo (ku ddyo) ne muto we Oscar Chelimo.
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Kiplimo #Commonwealth #IAAF

Oluvannyuma lw’okuwangulira Uganda omudaali ogw’ekikomo mu mmita 10,000 egy’emisinde gy’ensi yonna egyabadde mu Oregon ekya Amerika, Jacob Kiplimo y’omu ku baddusi 11 abasitula ekiro kya leero okwolekera Bungereza okwetaba mu mizannyo gya Commonwealth.

Mu Commonwealth, Kiplimo waakuvuganya mmita 10,000 ne 5,000 nga Bannayuganda bangi bamulinamu essuubi ly’okukomawo n’omudaali.

Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga Kiplimo yeetaba mu mizannyo gino ng’ogwasooka gwaliwo mu 2018 mu Gold Coast ekya Australia n’amaliri mu kyakuna mu mmia 10,000.

 

"We nnakomawo mu misinde gy'ensi yonna we ng’enda okutandikira kuba mpumudde ekimala. Nsuubira okudda n’omudaali okuva mu Commonwealth," Kiplimo bwe yategeezezza.

 

Mu mizannyo gya Commonwealth, Uganda yakiikiriddwa abaddusi 18 nga kubo 10 bakazi ate 8 basajja wabula wakyaliwo okubuusabuusa oba nga Joshua Cheptegei, Halima Nakaayi ne Winnie Nanyondo banaagyetabamu.

Abaddusi balala abagenze ye; Abu Mayanja, Adaron Haron, Tom Dradiga, Emmanuel Otim, stella Chesang, Racheal Chebet Zena, Peruth Chemutai, Shida Leni, Torotich Linet ne Sarah Chelangat.

Mu 2018 e Australia, emisinde gyawangulira Uganda emidaali 5 nga 3 gya zaabu (Joshua Cheptegei ne Stella Chesang), Mercyline Chelangat yawangula gwa kikomo ate Solomon Munyo Mutai yavaayo ne feeza.