Cheptegei y'awaniridde essuubi ly'omudaali gwa Uganda

Abaddusi munaana kw’abo 21 abagenda mu mpaka zino guno gwe mulundi gwabwe ogusooka okwetaba mu gy’ensi yonna ng’abatendesi babalinamu essuubi nti baakuwangulira Uganda emidaali.

Cheptegei ng'akwasibwa bendera nga kapiteeni wa ttiimu egenda.
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Cheptegei #Kiplimo #World Championship #World Athletics Championships #Oscar Chelimo

Abaddusi abakiikiridde Uganda

Abakazi; Halima Nakaayi (mita 800), Winnie Nanyondo (mita 1500), Peruth Chemutai (mita 3000 ez’okubuuka obusenge), Sarah Chelangat (mita 10,000 ne 5000), Prisca Chesang (mita 5000), Stella Chesang (10,000), Rebecca Cheptegei, Doreen Chesang ne Mercyline Chelangat (marathon).

Abasajja; Tarsis Orogot (mita 200), Tom Dradiga (mita 800), Abu Mayanja (mita 1500), Leonard Chemutai (mita ez’okubuuka obusenge), Oscar Chelimo (mita 5000), Joshua Cheptegei (mita 10,000 ne 5000), Rogers Kibet (10,000), Joel Ayeko (10,000) sso nga Stephen Kissa, Victor Kiplangat ne Andrew Kwemoi ba marathon.                                     Emizannyo gy’ensi yonna egya World Athletics Championships zitandikia ku Lwamukaaga lwa wiiki eno mu kibuga Budapest ekya Hungary.

Uganda egenda mu mpaka zino ng’ekiikiriddwa abaddusi 21 nga mwenda ku bano bakazi ate 12 basajja. Ttiimu yaakuduumirwa kyampiyoni w’empaka zino mu mbiro za mita 10,000, Joshua Cheptegei nga waakumyukibwa Stella Chesang. Bano bombi bali wansi w’omutendesi Benjamin Njia.

Abaddusi munaana kw’abo 21 abagenda mu mpaka zino guno gwe mulundi gwabwe ogusooka okwetaba mu gy’ensi yonna ng’abatendesi babalinamu essuubi nti baakuwangulira Uganda emidaali.

“Abaddusi baffe mbafunye okutendekebwa okumala mu nkambi e Kapchorwa. Mbalinamu essuubi nti bonna balina omukisa okuwangula emidaali,” Njia bwe yategeezezza.

Essuubi ly’emidaali liruwa?

Bannayuganda essuubi ly’okuvaayo n’omudaali libali mu baddusi b’embiro empanvu okuli; Cheptegei ne Oscar Chelimo nga mu z’omwaka oguwedde, yazivaamu n’omudaali gw’ekikomo. Victor Kiplangat naye agenda mu mpaka zino n’obuvumu bw’okuwangula zaabu mu gy’okwetooloola ebyalo nga bwe yakoze mu mizannyo gya Commonwealth omwaka oguwedde. Stephen Kissa akyusizza okuva mu mbiro za mmita 10,000 okudda mu gy’okwetooloola ebyalo.

Jacob Kiplimo (ku ddyo) ne muto we Oscar Chelimo

Jacob Kiplimo (ku ddyo) ne muto we Oscar Chelimo

Kiplimo gimusubye;

Wiiki ewedde, Bannayuganda baakubiddwa encukwe bwe baategeezeddwa nti Jacob Kiplimo tagenda kwetaba mu misinde gya nsi yonna olw’obuvune. Ng’oggyeeko eky’okuba nti Uganda efiiriddwa omudaali mu mita 10,000, kyakosezza nnyo ne Cheptegei kuba y’omu ku babadde bamuwa sipiidi edduka mu mbiro zino.   Omkwaka oguwedde, Kiplimo yayamba Cheptegei okuwangula omudaali ogwa zaabu ate ye n’avaayo n’omudaali ogw’ekikomo mu mbiro za mita 10,000.

Mu mpaka z’omwaka oguwedde ezaali mu Oregon ekya Amerika, Uganda yavaayo n’emidaali esatu ng’ogumu gwa zaabu gwawangulwa Joshua Cheptegei mu mbiro za mita 10,000 ng’egy’ekikomo ebiri gyawangulwa Jacob Kiplimo ne Oscar Chelimo.