Aba kkiraabu ya Cheptegei beefuze empaka za bamusaayimuto e Namboole

Lawundi ey’okusatu ey'emisinde gy'eggwanga egy’okusunsulamu egya National Athletics Trials yakomekerezeddwa eggulo ku Lwomukaaga mu kisaawe e Namboole.

Aba kkiraabu ya Cheptegei beefuze empaka za bamusaayimuto e Namboole
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Lawundi ey’okusatu ey'emisinde gy'eggwanga egy’okusunsulamu egya National Athletics Trials yakomekerezeddwa eggulo ku Lwomukaaga mu kisaawe e Namboole.Emisinde gino gye gisalawo abaddusi abanakiikirira Uganda mu mpaka ez’enjawulo ebweru w’eggwanga.

Abdullah Muhammed Mwogezi W'ekibiina Ky'emisinde.

Abdullah Muhammed Mwogezi W'ekibiina Ky'emisinde.


Gigenze  okukomekkerebwa nga abaddusi bamusaayimuto okuva mu kkiraabu ya Joshua Cheptegei eya Joshua Cheptegei Athletics club beefuze empaka za bato mu mbiro za mmita 3000 mu mutendera gwa bawala oluvannyuma lw’okuwangula ebifo ebitaano ebisooka.

 Isella Chebet yaziwangudde ng’addukidde eddakiika 09:20:16. Ku mulundi guno, essira ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation kiritadde ku kuyiga ttiimu y’eggwanga eya bamusaayimuto egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa eza bali wansi w’emyaka 18 ez’okubeera mu kibuga Lusaka ekya Zambia okuva nga April 29 okutuuka ku May 3, 2023.

 

Omwogezi w'ekibiina ekiddukanya omuzanyo gw'emisinde mu ggwanga Abdullah Muhammed ategezeza nti kyebafubako esaawa eno kwekulonda ttiimu eri ku mutindo omulungi.

Omuddusi Musaayi Muto Ng'avuganya.

Omuddusi Musaayi Muto Ng'avuganya.


"Tetwagala kutwala baddusi kutuukiriza mukolo, twagala abaddusi abagenda okuteekawo okuvuganya okwa maanyi basobole n’okuwangula emidaali mu mpaka zino," Muhammed bwe yategeezezza.
Omuwandiisi w’ekibiina ky’emisinde Beatrice Ayikoru ategeezezza wadde nga ssaawa eno abaddusi ekisaawe kye baddukiramu si kye kisinga naye mugumu nti baakutekawo okuvuganya okwa maanyi mu mpaka ze bagendamu.Ttiimu ya bamusaayimuto ey’okukiikirira eggwanga mu misinde gya Africa egya Africa Under18 Athletics Championships ez’okubeera mu Lusaka ekya Zambia ku nkomerero y’omwezi guno esuubirwa okulangirirwa mu makati ga April.