She Cranes eyolekedde olusozi gambalagala mu gya Commonwealth

EKIRO kya leero Lwamukaaga She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) eri mu nsiike esooka ne New Zealand mu mizannyo gya Commonwealth egy’atandise eggulo (Lwakutaano) mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.

She Cranes eyolekedde olusozi gambalagala mu gya Commonwealth
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Netball Common Wealth Games 2022

Australia – Scotland (6:00)

England – Malawi (9:30)

Jamaica – South Africa (12:00)

New Zealand – Uganda (4:30)

Bali ku kisaawe kya National Exhibition Center, wabula Uganda eyolekedde akaseera akazibu oluvannyuma lw’okubeera mu kibinja (B) ekikakali omuli; New Zealand ba kyampiyoni b’ensi yonna mu kubaka, Malawi, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Bungereza abategesi.

EKIFAANANYI KYA SHE CRANES

Ekisenge kya ttiimu kitiiriika, ku bazibizi bana (4) be yatutte, babiri bokka okuli Joan Nampungu ne Shaffie Nalwanja be bagezaako okuba n’obumanyirivu mu mpaka eziri ku mutendera gw’ensi yonna ne Afrika. Wabula bano bampi, buli omu alina fuuti 5 kyokka abateebi ba New Zealand bonna 4, omu yekka yalina effuuti 5 abalala 6.

Abazibizi abalala ababiri okuli; Hanisha Muhameed Nakate ne Sandra Ruth Nambirige gwe mulundi gwabwe ogusooka mu mizannyo gino. Kyokka Nakate ng’oggyeeko emyaka gy’obuto bwe yageegeenyanga okuzibira, emirundi egisinga abadde muteebi kati mu kisenge agenze nga makanika ate Nambirige baamututte mulwadde.

Aba She Cranes

Aba She Cranes

Okugezaako okutangira emipiira okutuuka ennyo ku bazibizi baffe, Mugerwa alina okwewola obumanyirivu bwa Jesca Achan ne Stella Oyella abazannyise amakkati bayambibweko Norah Lunkuse wadde nabo sibawanvu kimala.

Obumanyirivu ku ttiimu butono, abazannyi 7 ku 12 omutendesi be yatutte, bonna bapya. Ng’oggyeeko okuzannyako mu kikopo ky’Afrika gye buvuddeko n’empaka za Pent-series ezibadde e Namibia, guno gwe mulundi ogusooka okuzannya empaka eziri ku mutendera gw’ensi yonna. Jesca Achan, Stella Oyella, Joan Nampungu, Mary Nuba ne Peace Proscovia be bokka abalina obumanyirivu.

Amaanyi aga She Cranes gali mu maaso awali kapiteeni Peace Proscovia ne Mary Nuba, ssinga amakkati gaffe gakola bulungi okuliikiriza mu maaso n’okuyambako abazibizi, Uganda eyinza obutakubwa ggoolo nnyingi.

Tuzannya New Zealand abalina ekikopo ky’ensi yonna kye bazze bagabana ne Australia okuva 1963 okutuuka leero, teri ggwanga ddala lyali likiwangudde. Newzealand yafuula Uganda akagoma nti buli lw’etusanga ewuttula nga bw’eyagala. Yatukuba 76-33 mu World Netball Cup (2015) n’etudda mu biwundu (64-51) mu gya Commonwealth (2018). Bannayuganda batunuulidde okulaba oba omutendesi Mugerwa asobola okukyusa ebyafaayo bino.

Okutangaaza emikisa gya Uganda okuva mu kibinja, erina okulwana waakiri ku Bungereza ne New Zealand ekubeko emu kuzzo, olwo efaafaagane ne Malawi, Trinidad and Tobago ne Northern Ireland kuba zikubika. Kino bwe kigaana, ejja kusigala kulwanirira kifo kyayo ekyomukaaga ky’erimu mu nsi yonna kyokka ne Malawi ekyetaaga. 

Uganda ekiika mulundi gwakubiri mu mizannyo gya commonwealth, ogwasooka mu 2018 mu kibuga Goldcoast ekya Australia, yamalira mu kifo kya 6.