Uganda ekikkiriddwa 4 mu za Fina World Junior Swimming Championships
Aug 30, 2022
Ku bano kuliko abawala 2 (Tarah Kisawuzi ne Swagiah Mubiru) n’abalenzi 2 (Steve Magere ne Joshua Lumonya).

NewVision Reporter
@NewVision
Empaka z’okuwuga eza bamusaayi muto eza ‘Fina World Junior swimming championships’ ez’omulundi ogw’omunaana zitandise leero mu Peru nga Uganda ekikkiriddwa abawuzi 4.
Ku bano kuliko abawala 2 (Tarah Kisawuzi ne Swagiah Mubiru) n’abalenzi 2 (Steve Magere ne Joshua Lumonya).
Swagiah Mubiru ye Munnayuganda asookawo mu nsiike ng’agenda kuba avuganya mu mutendera gwa mmita 50 Breaststroke era ali mu kibinja kyakusatu.
Omutendesi wa ttiimu, Erick Kisero ategeezezza ng’abawuzi bwe bali mu mbeera ennungi ng’era bannagenda okuva mu mpaka zino nga bafunye ekyokuyiga.
“Ekigendererwa kyaffe kyakulaba ng’abawuzi baffe bafuna obukugu obwetagisa okuvuganya mu mpaka ez’amaanyi. Era tuli beetegefu okuwa abawuzi baffe buli mukisa ogwetaagisa okulaba nga bakola bulungi mu mpaka ez’enjawulo,” Kisero bw’anyonyodde.
Empaka ezitandise leero zaakukomekerezebwa nga September 4.
No Comment