Baakusiibula Tony Mawejje
Aug 30, 2022
Okusinziira ku Mawejje omupiira ogusooka gwakuzannyibwa nga September 14, 2022 ku kisaawe kya MTN Omondi e Lugogo ate ogwokubiri nga September 16 ku recreational center e Masaka.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAALI bassita ba Cranes mu mpaka za Afrika eza 2017 e Libreville, Gabon beesomye okusiibula muzannyi munnaabwe Tony Mawejje mu maanyi ng’awummula omupiira mu butongole.
Kiddiridde Mawejje okulangirira mu butongole wiikendi nga bw’agenda okutegeka emipiira gy’omukwano 2 mu Kampala n’e Masaka gye yatandikira olugendo lw’omupiira.
Okusinziira ku Mawejje omupiira ogusooka gwakuzannyibwa nga September 14, 2022 ku kisaawe kya MTN Omondi e Lugogo ate ogwokubiri nga September 16 ku recreational center e Masaka.
“Ky’ekiseera mpummule omupiira, ng’enda kutandikawo akademi y’abawuwuttanyi gyentuumye “TM6 Box ku Box midfielders’ Academy’ era emipiira 2 gye ntegese gya kusiibulirako abawagizi bange,” Mawejje bwe yategeezezza.
Be yazannya nabo bawera
Godfrey Walusimbi ‘Jajja Walu’ agamba nti Mawejje akoze buli kimu mu mupiira gwa Uganda era abadde agwanira ekisingako okumutegekera omupiira naye okumulaga nti tumwagala, ffenna aba AFCON ya 2017 tugenda kubeerawo okuweesa omukolo ekitiibwa. Mawejje y’omu ku bazannyi mu ggwanga gwe nayagalanga okuzannyako naye ate namuyigirako bingi.
Hassan Wasswa
Hassan Wasswa Mawanda; “Omulundi gwe nasooka okuzannya ne Mawejje, twali ku ttiimu ya ggwanga ey’abatasussa myaka 19, nnali nzannyira Ssaza lya Buddu era yanzizzaamu nnyo amaanyi nti nja kusobola omupiira, ebigambo bino byangumya era nkimanyi abazannyi bangi abamuyigiddeko ebintu ewerako, nsaba ffenna tweyiwe mu bungi tuwagire ssiniya waffe okutandika akademi n’okuwummula omupiira mu kitiibwa,”.
Cranes eyazannya AFCON 2017.
Mu ggoolo; Dennis Onyango, Salim Magoola, Robert Odongkara, Abazibizi; Denis Iguma, Godfrey Walusimbi, Isaac Isinde, Joseph Ochaya, Murushid Jjuuko, Nicholas Wadada, Timothy Awany, Abawuwuttanyi; Farouk Miya, Geoffrey Baba Kizito, Hassan Wasswa Mawanda, Khalid Aucho, Mike Azira, Moses Oloya, Shafik Batambuze, Tonny Mawejje, William Luwaga Kizito, Abateebi; Geoffrey Massa, Geofrey Sserunkuuna, Mohammed Shaban, Yunus Ssentamu.
No Comment