Tugenda kukalubira ku ya Misiri - BUL FC

Sep 10, 2022

CAF Confederations Cup (ssaawa10:00);BUL FC – Future (Misiri) e KitendeOMULUNDI ogusoose BUL FC okwetaba mu mpaka za CAF, omutendesi waayo, Alex Isabirye agambye nti tebeetabye bwetabi mu mpaka wabula bavuganya n'asuubiza abawagizi okukola obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision

CAF Confederations Cup (ssaawa10:00);
BUL FC – Future (Misiri) e Kitende
OMULUNDI ogusoose BUL FC okwetaba mu mpaka za CAF, omutendesi waayo, Alex Isabirye agambye nti tebeetabye bwetabi mu mpaka wabula bavuganya n'asuubiza abawagizi okukola obulungi.
Leero (Lwamukaaga), BUL ettunka ne Future eya Misiri mu nsiike eri mu kisaawe kya Vipers e Kitende. Baddihhana ku Lwomukaaga olujja (September 17) e Misiri okulabako eyeesogga oluzannya olwokubiri mu CAF Confederation Cup.
BUL, yawangula Uganda Cup sso nga Future yamalira mu kyakuna mu liigi y’e Misiri. Isabirye agamba liigi okulwawo okutandika kikosezzaamu ttiimu ye olw’obutafuna kugezesebwa kumala nti kyokka abazannyi abategese bulungi era abaagaza buwanguzi.
Guno mulundi gwakusatu nga Isabirye atendeka ttiimu ekiika mu CAF nga mu 2010 ne 2013 yali mu URA FC.
Wadde gwe mulundi gwa Future ogusoose mu mpaka za CAF, omutindo gwayo gutiisa. Ekubiddwa omupiira gumu ku musanvu mu liigi ya Misiri

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});